TOP
  • Home
  • News
  • Bamukutte n'omutwe gw'omwana mu kisawo

Bamukutte n'omutwe gw'omwana mu kisawo

Added 23rd January 2021

Mayanja eyattiddwa.

Mayanja eyattiddwa.

OMUSAJJA eyakwatiddwa ku bigambibwa nti yasazeeko omwana omutwe abuulidde poliisi engeri omusuubuzi w'emmwaanyi gye yamusuubizza obukadde 30 singa amuleetera emitwe gy'abaana ebiri.

Nicholas Twumwesigye 21, yakwatiddwa nga January 14, n'omutwe gw'omwana Yoweri Mayanja Bazirondodde 4, mu kisawo ku kyalo Kitekaanya mu ggombolola y'e Makulubita e Luweero.

Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savana, Isa Ssemwogerere yagambye nti, Tumwesigye yalabirizza bazadde ba Mayanja nga bagenze okulonda n'amukwata n'amusalako obulago ekiwuduwudu n'akisuula mu nsiko.

Ssemwogerere yagasseeko nti, bwe baakunyizza Tumwesigye yagambye nti, waliwo omusuubuzi w'emmwaanyi ku kyalo Kitekanga mu ggombolola y'e Ssemuto e Nakaseke (amanya gasirikiddwa) eyamutumye omutwe.

Tumwesigye yagambye nti, omugagga ono, yamutumye emitwe gy'abaana ebiri nga yabadde amusuubizza okumuwa obukadde 30 singa agimutwalira.
"Twagguddewo ffayiro bbiri ku poliisi e Luweero kubanga omutwe twagusanze walala
n'ekiwuduwudu ne tukisanga walala. Ffayiro y'omutwe eri CRB 027/2021 ate ey'ekiwuduwudu eri CRB 028/2021," Ssemwogerere bwe yagambye.

Yayongeddeko nti, okunoonyereza kugenda mu maaso era bateebereza nti, okutta omwana ono, mwabaddemu okusaddaaka kubanga waliwo ebitundu by'omunda mu mubiri ebyasangiddwa nga byatwalibwa.

Yagasseeko nti, ekiwuduwudu n'omutwe byatwalibwa mu ggwanika e Mulago okwebejjebwa era balinda ebinaava mu kukebera omulambo oba gukwatagana n'omutwe.

ENGERI OMWNA GYE YASALIDDWAKO OMUTWE
We baasanze omulambo ku kyalo Kikunyu mu muluka gw'e Kangave mu ggombolola y'e Makulubita mu disitulikiti y'e Luweero,  waabaddewo akafaliso ke yasoose okuggya awaka kwe yattidde omwana.

Kigambibwa nti, Mayanja yamututte ne muto we Kezekia Walusimbi 2, nga naye yabadde agenda kumusalako mutwe kyokka yabadde yaakasala ogwa Mayanja ne wabaawo ekimukanga n'adduka.

Bwe yadduse, yagenze ku kyalo Kitekaanya ekiriraanye Kikunyu n'alagira owa bodaboda okubaako w'amutwala.

Owa bodaboda ye yalabye Tumwesigye nga byayogera tebikwatagana n'ekisawo kye yabadde akutte nga kivulubanye
omusaayi n'amukwata n'akuba enduulu abatuuze ne bakungaana ne bamuggyako ekisawo era baagenze okukikebera baasanzeemu omutwe gw'omwana wabula bwe baamubuuzizza gy'aguggye, yasoose kugaana kubabuulira.

Omu ku batuuze yagambye nti, baagenze ku kizindaalo ne balanga omwana eyabadde asaliddwaako omutwe ne basaba abazadde bakebere abaana baabwe ne kizuulwa nga Mayanja yabadde talabika ne batandika okusamba ensiko.

Gye baagenze okunoonya, gye baasanze Walusimbi n'abasongera gye yabadde ava ne bagenda okulaba ekiriyo.

Banoonyezza okumala ebbanga nga tebalaba okutuusa lwe baalengedde akafaliso era
baagenze okutuukawo nga waliwo omusaayi.

Justine Nabuufu nga y'akulira ensonga z'amaka ku kakiiko k'ekyalo yagambye nti baabuuzizza Tumwesigye nga poliisi tennaba kumutwala n'abagamba nga buli mutwe babadde bagumuwaamu obukadde 15 kyokka yagaanye okutubuulira mugagga ki eyamutumye omutwe era poliisi we yajjidde n'emutwala annyonnyole ebisingawo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...