TOP
  • Home
  • News
  • 'Kye kiseera okwesiga Bobosi ku Cranes'

'Kye kiseera okwesiga Bobosi ku Cranes'

Added 23rd January 2021

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

Bobosi omuzannyi w'omupiira.

"EKYASINZE okunsanyusa kwe kulaba nga mutabani wange Bobosi Byaruhanga ali ku katebe ka ttiimu y'eggwanga ey'abakulu. Kino kimwongera obuvumu kuba abeera ayigira ku bazannyi abamusinga obumanyirivu nga Tonny Mawejje n'abalala." Bino byabadde bigambo bya Flavia Nyiramahoro.

Nyiramahoro omutuuze w'e Kisoro ku kyalo Nyarusiza maama wa Bobosi y'omu ku baalabye omupiira gwa Cranes ng'eremagana ne Rwanda (0-0) wabula agamba mutabani baakoze bubi obutamuwa mupiira kuba bangi ku baazannye b'asinga ekitone.

Bobosi, y'omu ku bazannyi ababadde ku ffoomu mu mpaka za CECAFA U20 ezaabadde e Tanzania omwaka oguwedde era yayamba nnyo Uganda okuwangula ekikopo kino.

           Nyiramahoro

"Buli bw'abeera agenda okuzannya naddala ku ttiimu y'eggwanga, nfuba okulaba nga kw'olwo nsiiba nga kwetadde n'okwegayirira Katonda amuwe omuzannyo omulungi. Nsaba nnyo omutendesi (Johnathan McKinstry) atandike okumwesiga kuba ky'anoonya mu bazannyi, Bobosi ajja kukimuwa," Nyiramahoro bwe yagasseeko.

Bobosi, kuva mu buto yali muwagizi wa Arsenal nga nnyina agamba buli Arsenal lwe yakubwanga, ng'olwo waakusiiba mu maziga awaka.

Nyimahoro teyaleseeyo kwebaza Dr. Lawrence Mulindwa nnannyini SC Vipers olw'okuyamba mutabani we okututumula ekitone kye.






  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...