TOP
  • Home
  • News
  • Tumukunde bamugobye ewa Bobi Wine

Tumukunde bamugobye ewa Bobi Wine

Added 23rd January 2021

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

Tumukunde (ku ddyo) ng’agezaako okuyita ku baserikale. Oluvannyuma baamugaAnye okweyongerayo ewa Kyagulanyi.

EGGULO ku Lwokutaano, Omubaka Robert Kyagulanyi Sentamu yabadde ategese okwogera eri eggwanga. Naye ng'ebyo tebinnabaawo, abajaasi abaamusibira ewuwe beenyodde ne Gen. Henry Tumukunde ne bamulemesa okumulaba.

Okutuuka mu maka ga Kyagulanyi, waliwo emisanvu 6 egiriko abajaasi abakuumawo. Bonna bambadde obukookolo mu ffeesi nga kuliko obutuli ku maaso era tebategeerekeka.

Gen. Tumukunde yazze ku Lwokuna akawungeezi e Magere n'ategeeza nti eby'okwogera ne Kyagulanyi alina bingi ddala ate bwe kituuka ku kiseera kino ng'akalulu kaakaggwa, budde bwe bunaamusalako naye eby'okuteesaako yabadde azze na bingi.

Yatuukidde ku misanvu egitandikira ku kifo ekimanyiddwa nga Freedom Square, Kyagulanyi we yalondera olwo n'abuulizaawo abajaasi abaabadde bakuuma bamwanjulire abaduumira boogeremu.

            Abaserikale Nga Beekebejja Mmotoka Y'ebintu Ng'edda Ku Ludda Lwa Kyagulanyi Gy'asula.

Baamuwadde ennamba y'essimu y'omuntu gwe baamugambye nti ye DPC era y'alina obuyinza obwenkomeredde okumuwa olukusa okuyitawo.

Tumukunde yakubye essimu naye teyayambiddwa kuba eyagikutte bwe yabuuziddwa oba ye DPC ayogerwako n'akkiriza kyokka Tumukunde bwe yeeyanjudde n'awa n'ensonga emukubizza essimu, eyabadde akkirizza ku ssimu nti ye DPC ate yabikyusizza n'asaasira Tumukunde nti akubye nnamba nkyamu kuba ye ddereeva. Olwo n'essimu n'agiggyako.

Tumukunde yatandise okwecwacwana n'abaserikale naye nga bamugamba kimu nti tajja kuyingira okutuusa lwe yabavuddeko n'adda mu mmotoka ye n'abaviira.

BANNAMATEEKA BA KYAGULANYI NABO BAASOOSE KWEZOOBA OKUTUUKAYO
Bannamateeka ba Kyagulanyi okwabadde Omubaka Asuman Basalirwa, Anthony Wameri, Benjamin Katana, Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Lubongoya n'abalala kyabatwalidde essaawa ezisoba mu bbiri okuyita ku misanvu egyassiddwa ku Freedom Square e Magere.

Oluvannyuma lw'abaserikale okukuba amasimu agawerako, bakkirizzaako emmotoka bbiri zokka era bonna ne beepanga mwezo ne balyoka boolekera ewa Kyagulanyi.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...

Siraje Kiyemba Expert ng’alaga ebirabo by’atunda.

Kaadi n'ebirabo byongereko ...

OBADDE okimanyi nti ekirabo ky’otunda okwagaliza omuyizi okukola obulungi ebibuuzo eby’akamalirizo osobola okukyongerako...

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?