TOP
  • Home
  • News
  • 'Manifesito ya NRM ebyemizannyo ebitadde ku mwanjo'

'Manifesito ya NRM ebyemizannyo ebitadde ku mwanjo'

Added 23rd January 2021

Rogers Mulindwa

Rogers Mulindwa

ROGERS MULINDWA - OMWOGEZI WA NRM

Nsooka okwebaza bannabyamizannyo olw'obuwagizi era njagala okubagumya nti embeera egenda kulongooka nga tukola ku bintu eby'enjawulo nga bwe birambikiddwa mu manifesito yaffe.

Okusookera ddala embalirira y'emizannyo kulinnyisibwa, kisobozese emizannyo egy'enjawulo okwongeza ku nsimbi ze gibadde gifuna okuva mu Gavumenti okukola emirimu.

Ekisaawe kya National High Altitude Centre ekizimbibwa e Kapchorwa okutendekerwamu abaddusi kigenda kumalirizibwa mu bwangu.

Ebisaawe mu ligyoni ez'enjawulo, okugeza ekya Aki Bua mu Lira ne Kakyeka e Mbarara bigenda kuddaabirizibwa n'okuzimbibwa okutuukana n'omutindo.

Tugenda kusooka kunyweza bye tubadde tukola ate era twongereko, okugeza okusasula abatendesi ba ttiimu z'eggwanga endala nga bw'olaba owa Uganda Cranes ssaako okusasula abazannyi ku ttiimu y'eggwanga buli mwezi.

Tugenda kwongera amaanyi mu kuyamba abazannyi baffe ne ttiimu ezeetaba mu mpaka z'ensi yonna wamu ne mu ligyoni.

Ekirala kye tugezaako okukola kwe kwogerezeganya ne Muzeeyi okulaba ng'emizannyo gifuna minisitule eyeetengeredde okwawukana ku y'Ebyenjigiriza. Tulowooza nti okubeera wansi mu minisitule y'Ebyenjigiriza tebifunamu (ebyemizannyo) oba olyawo tebifiibwako kimala.

Gavumenti eyagala Uganda okulinnya mu nsengeka mu mizannyo egy'enkizo okuli omupiira, okubaka n'emisinde, nga bayita mu nkola y'okussa essira ku kuzuula n'okuzimba ebitone, okuteeka amasomero agassa essira ku mizannyo mu bitundu by'eggwanga eby'enjawulo ne akademi, ssaako okuddaabiriza ebifo n'ebisaawe okwetooloola eggwanga.

Gavumenti era etegeka okuwagira enkulaakulana ya kiraabu eziri pulofeesono okusobozesa enzirukanya y'emizannyo eri ku mutindo.

(Mulindwa era mmemba w'akakiiko ka FUFA ak'oku ntikko, era y'akulira akakiiko akagabira kiraabu layisinsi).

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abasiraamu nga banyumyamu.

Bayimamu twemweyingiza mu b...

DISITULIKITI Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ismail Ibrahim Kibuule asisinkanye Abasiraamu okuva mu mizigiti egy’enjawulo...

Pasita Caleb Tukaikiriza ng'ayogera mu lukiiko. Ku ddyo ye Bbaale.

Abawala 300 mu Kalungu bazz...

OMUBAKA wa Gavumenti, Pastor Caleb Tukaikiriza agugumbudde abazadde abatatuukirizza buvunaanyizibwa bw’okukuuma...

Abazannya ‘Bizzonto’ nga beegezaamu.

Abazannya komedi wa 'Bizzon...

POLIISI ezzeemu okukwata abasajja abazannya komedi wa ‘Bizzonto’ ne basimbibwa mu kkooti ya Buganda Road gye babasomedde...

Kluthum

Kluthum ayogedde ku katambi...

MUKYALA wa Sheikh Muzaata Batte, Kluthum Nabunnya ayogedde ku katambi akaamutabula ne bba bwe yali ayogera ne ‘hawusibooyi.’...

Bannamateeka ba Kyagulanyi okuli Medard Lubega Sseggona ( ku kkono), Muwanda Nkunnyingi ne Sam Muyizzi.

Kkooti esazeewo ku gwa Kyag...

KKOOTI ekkirizza Kyagulanyi okuggyayo omusango gw’obululu gwe yawaaba wabula abalamuzi baakuwa ensala yaabwe ku...