TOP
  • Home
  • News
  • 15 beesowoddeyo okugonjoola ebyalema Kiyimba e Kyengera

15 beesowoddeyo okugonjoola ebyalema Kiyimba e Kyengera

Added 23rd January 2021

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

Kasasiro asuulibwa mu myala ne gizibikira.

ABEESOWODDEYO 15, banaasobola okumalawo ebizibu ebitawaanya abantu ba Kyengera Town Councli ebiremye Abdul Kiyimba?

Bw'olaba Kyengera ng'eri kumpi ne Kampala oyinza okulowooza nti buli kimu kiri bulungi. Naye enguudo, ebyobulamu, kasasiro n'ekibbattaka bibazinya oluguje.

Mu kitundu kino, ng'oggyeeko oluguudo lw'e Masaka olwa koolaasi okuva e Busega okutuuka e Maya, ekitundu kino tekirina luguudo lulala lwa koolaasi.

Bangi beesowoddeyo okutwala obukulembeze bwa Kyengera oluvannyuma lwa Hajji Abdul Kiyimba okukikulembera okumala ebisanja bibiri. Ekyebuuzibwa
nti abeesowoddeyo okuvuganya banaamalawo ebibaluma?

EBYOBULAMU
Town Council ennamba erina amalwaliro ana (4) gokka ng'abiri ku gano gali ku mutendera gwa Health Centre III okuli erye Kyengera eryakasuumuusibwa ne Nsangi Health Centre III ate Kasenge ne Nakitokolo gali ku mutendera gwa Health Centre II.
Mulimu ambyulensi emu, Kiyimba gye yagula naye yakwama.

EBYENJIGIRIZA
Mulimu amasomero aga siniya ataano (5) ate pulayimale 21 kyokka okusoomoozebwa okusinga kwe kuba nti Nabbingo ne Kings College Buddo abazadde abasinga
mu kitundu tebagasobola olw'ebisale byago.

Wadde nga Gavumenti ekubiriza abazadde okwagazisa abaana emisomo gy'ebyemikono, temuli ssomero lya Gavumenti lisomesa byamikono era ekivuddeko
ebbula ly'emirimu mu bavubuka n'obumenyi bw'amateeka okweyongera.

EKIBBATTAKA
Kigambibwa nti abakulembeze okuviira ddala ku mitendera gy'ebyalo, poliisi n'aba Town Concil bakoze kinene okudibaga ensonga z'ettaka era abeesimbyewo
buli we batuuka abantu babateeka ku nninga okunnyonnyola engeri gye bagenda okubayamba ku kizibu kino.

KASASIRO
Buli miruka 10 osangako 8 ng'abasulamu abasinga bapangisa abatalina bifo waakuyiwa kasasiro ate nga Town Council terina kifo w'emukuηηaanyiza oba w'emuyiwa. Kkampuni eyaweebwa ttenda y'okuyoola kasasiro terina busobozi bumala.

ENGUUDO
Oluguudo lw'e Masaka olugatta Kyengera Town Council ku Kampala ne Mpigi bye bimu ku bitundu ebisinga okubeeramu akalippagano k'ebidduka wabula abakugu bagamba nti ekizibu kino kisobola okugonjoolwa singa amakubo agava ku mwasanjala
gaba gakoleddwa.

           Geoffrey Ssebaggala Owa Nrm.                    

Experito Gganaggwa, ssentebe wa Kyengera Wakimese agamba nti abantu ebyobufuzi baagufuula mulimu era ng'abasinga bagenda kufuna ssente wabula si kuweereza bantu.

Ono agamba nti, mmeeya alina okubeera n'obukugu mu mbeera z'abantu kubanga
Kyengera alimu abantu aba buli kika omuli abaavu, abagagga, abayivu n'abatali nga
bonna asobola okubawuliriza n'okweteeka mu ngatto zaabwe. Abeesimbyewo buli omu awera okufuula Kyengera amata.

Munna NRM, Geoffrey Ssebaggala mutuuze we Nanziga nga musomesa era alina diguli
bbiri, agamba nti emyaka 10 gy'amaze ng'akiikirira omuluka gw'e Nanziga ng'etaano ku gyo abadde mumyuka wa meeya kimuwa enkizo ku banne kuba amanyi ebizibu ebiruma abantu.

Ssaalongo David Muweera DP, omutuuze w'e Buddo Kimbejja yategeezezza nti ye amaanyi agenda kugateeka ku byobulamu ng'atandikira ku buyonjo bw'omu
maka n'okunogera ekizibu kya kasasiro eddagala.

Omuyimbi Mathias Walukagga mutuuze we Maya era nga y'omu ku basinga obuwagizi
olw'okukwatira NUP bendera. Agamba nti essira agenda kuliteeka
ku nsonga za Buganda ettaano naddala okukuuma ettaka, okutumbula n'okukuuma ebyobuwangwa.

Robert Luswata omutuuze w'e Nabbingo amaanyi agatadde mu kutumbula byabulamu era ng'ali ku kaweefube waakutalaaga emiruka gyonna ng'awa abantu obujjanjabi obusookerwako.

Alina n'enteekateeka eri abavubuka ng'ayita mu kukwatagana n'amakampuni ag'ebyemikono mu kitundu.

Ibrahim Kiggundu mutuuze we Nsangi-Katereke nga musuubuzi wa ttaka, agamba nti azze kutuusa Bannakyengera mu bulamu obw'okwesiima ng'atandikira mu kusitula embeera z'abakyala n'abavubuka n'okulwanyisa ekibbattaka.

Diriisa Kyambadde omutuuze w'e Buddo - Kimbejja ng'ono musomesa mutendeke agamba nti essira agenda kuliteeka ku kunyweza byakwerinda mu kitundu.

Adrian Ssekyanzi musawo omutendeke agamba nti agenda kugulira Bannakyengera ambyulensi okuyamba ku byobulamu.

Peter Balikuddembe Jjumba mutuuze we Nsangi- Mukono, abadde kansala wa LCV ow'omuluka gwe Kyengera agamba essira waakuliteeka ku byanjigiriza, ebyobulamu,
okulwanyisa ekibbattaka ssaako obuyonjo.

Mathias Walukagga Owa Nup.

Lule Kiwanuka Bonny mutuuze we Kyengera Nabaziza agamba nti agenda kulwana okulaba ng'emisolo gikendeera ate n'abagiwa bagiganyulwemu.

Nabil Bunya musuubuzi nga mutuuze we Kyengera Wakimese agamba nti amaanyi
waakugateeka mu kutumbula byanfuna naddala mu bavubuka n'abakyala.

Pasita James Malinga omutuuze w'e Kitemu agamba nti alina enteekateeka ez'enjawulo
okutumbula ebyenjigiriza, ebyobuyonjo ng'ateekawo kaabuyonjo ez'olukale ku buli kyalo.

Abalala kuliko Gonzaga Matovu, Mikidard Kasolo nga bonna bawera kutwala buwanguzi.

EBIKWATA KU KYENGERA TOWN COUNCIL
 Erimu emiruka 10 n'ebyalo 53 n'abantu abasoba mu mitwalo 30.
Yafuulibwa Town Council mu 2016, okuva mu ggombolola y'e Nsangi mu konsitityuwensi ya Busiro East ekiikirirwa Medard Lubega Ssegona.
 Hajji Abdul Kiyimba mmeeya aliko alese atandise ku mulimu gw'okuzimba ekizimbe ky'ekitebe kya Town Council.
 Erina Health Centre III bbiri ne Health Centre II bbiri.
 Erina amasomero ga siniya aga Gavumenti 5 n'aga pulayimale 21.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...