
Loodi Meeya Lukwago.
MUNNAMATEEKA Erias Lukwago 50 asuubirwa okulayizibwa mu wiiki esooka eya June 2021 okutandika ekisanja ekyokusatu nga Loodi Mmeeya wa Kampala.
Ng'enkola ku KCCA bw'ebadde bulijjo, Lukwago bw'anaamala okulayira ne bakkansala ba KCCA 51 nabo balarayire okutandika ekisanja kyabwe.
BAKANSALA ABAZZE
Bammeeya ba munisipaali za Kampala ettaano; Central, Nakawa, Kawempe, Lubaga ne Makindye ne bakkansala baabwe (bagenda kulondebwa ku Mmande nga January 25, 2021) nabo baakulayizibwa ku lunaku lwe lumu nga Loodi Mmeeya.
Ebbanga ery'emyezi ena egibulayo nga Loodi Mmeeya Lukwago ne bakkansala ba KCCA abaakalondebwa tebannayingira City Hall, ligenda kubeera lya kuzannya ebyobufuzi eby'okubaza, okukola ddiiru n'okupanga.
Enteeseganya zisuubirwa wakati wa Lukwago ne bakkansala abaayiseemu, abakulembeze aba FDC ne NUP ekisinza bakkansala abangi 41. FDC yafunye ebifo bina (ekya Loodi Mmeeya n'abalala basatu). DP ne NRM tebaafunye kkansala yenna kyokka bakyalina essuubi okufuna ku bifo ebya bakkansala abana ababulayo; abakiikirira abalema n'abavubuka.
OLUSOZI LUKWAGO LW'AYOLEKEDE MU KKANSO
Lukwago asuubirwa nti anaagenda okulayizibwa mu June nga yamala ddala okusalawo ani gw'agenda okuwa ekifo ky'omumyuka we ne ku bifo ebina ebya kabineeti ye; omumyuka wa Loodi Mmeeya, ow'ebyensimbi, ow'ebyobulamu n'enjigiriza n'owekikula ky'abantu.
Etteeka lya KCCA liwa Lukwago obuyinza okwerondera omumyuka wa Loodi Mmeeya n'abantu abalala basatu abatuula ku kabineeti kyokka kkanso erina okusooka okusemba amannya gaabwe okufaananako nga ne Palamenti bw'ekakasa abantu Pulezidenti bw'alonze ku bwaminisita.
Kino kitegeeza nti singa wabaawo okusika omuguwa wakati wa Lukwago ne bakkansala, kkanso eyinza okugaana okubakakasa, awo Lukwago ne yeesanga ng'ali ku mbiranye ne bakkansala ekiyinza okuleetawo akatuubagiro ku City Hall.
Wasswa Ziritwawula eyaliko ssentebe w'eggombolola ya Kampala Central mu 1998 awabudde Lukwago nti, alina okuzannya ebyobufuzi ebyekikulu n'aba NUP oba ssi ekyo bagenda kumukuba ekigwo kubanga FDC bakkansala basatu bokka be yafunye tebagenda kuba na ddoboozi bw'ogeraageranya n'aba NUP abasoba mu 40.
Wabula kkansala Daudi Lwanga kansala mu KCCA ku kaadi ya NRM mu kiseera kino kyokka nga teyavuganyizza mu kulonda kuno yategeezezza nti tasuubira Lukwago kufuna buzibu n'aba NUP kubanga okusinziira ku ky'amanyi tewali wa NUP mwetegefu kulwanyisa Lukwago kubanga bonna bamumanyi amaanyi ge ate abayingidde kkanso abasinga bavubuka ate bavudde ku ludda luvuganya nti ye talabawo nnyo bibaawula.
Ensonda mu bayambi ba Lukwago zaategeezezza nti Omuloodi akyasibidde ku ky'okukomyawo kkansala Doreen Nyanjula ku ky'omumyuka wa Loodi Mmeeya kyokka alina olusozi okumatiza bakkansala ba NUP okuyisa erinnya lya Nyanjula kubanga bombi, Lukwago ne Njanjula ba FDC ate nga FDC yaleese abantu bana bokka ku kkanso empya.
Ekifo ky'omumyuka wa Loodi Mmeeya, Nyanjula abade tannakibugumya bulungi nga tannakiwezaako wadde omwaka kubanga Lulwago yakimuwadde mu June 2020 oluvannyuma lwa Pulezidenti okumutwalako Sarah Kanyike eyali Loodi Mmeeya, Museveni gwe yawa obwaminisita.
Kyokka Ziritwawula yategeezezza nti, Loodi Mmeeya ateekwa okukolagana obulungi ne bakkansala kubanga buli omu yeetaaga munne n'agattako nti Lukwago era ateekwa n'okwebuuza ku bakulira ekibiina NUP okufaananako nga bwe yeebuuza ku ba FDC abaamuwa tikiti.
Ziritwawula yagambye nti naye yafunako ku kizibu ekya bakkansala abasing obungi mu lukiiko lwe nga ba NRM ate ye nga bamumanyi nga owa DP era yalonda olukiiko ne balugoba n'agenda ewa minisita wa Gavumenti ezeebitundu eyaliwo ekiseera ekyo Jabeeri Bidandi Ssali n'amuwabula nti, ateese nabo kubanga balina obuyinza nabo mu tteeka.
Yawabudde nti Lukwaago engeri gy'amanyi ebyobufuzi ebitambulira ku mateeka amukakasa nti buli lutalo oluyinza okugwawo asobola okulukkakkanya ate wadde kisuubirwa naye nga okusinziira ku by'alaba bangi akiriziganya nabo.
Wabula kkansala Lwanga yagambye nti ebiyinza okuvaako olutalo wakati wa bakkansala ne Lukwago bitono0 nnyo okusinga ebibagatta era asuubira nti Lukwago agenda kuba ne kkanso ennungi emuwuliriramu kubanga bonna abasinga ate ebyatuukawo mu biseera bya 2011 nga Lukwago bamugoba tewali ayinza kubiddamu kiseera kino.
Ismail Ddamba Kisuze abadde kkansala w'e Lubaga South nga yeesimbyewo n'atayitamu yagambye ebbanga ly'akoze ne Lukwago amumanyi nga munnabyabufuzi akkiririza mu kukkaanya ne banne, kyokka lwa kuba nga muzibu wa kukyusa ku ky'abeera anyweereddeko noolwekyo aba NUP balina okumanya nti bwe babeera ne Lukwago ensonga zaabwe bazeesigamye ku mateeka ate nga bekkiririzaamu nga bateesa.
Yagambye nti Lukwago alina ebifo ebirambikiddwa mu tteeka by'agenda okugaba nti abavubuka abavudde mu NUP bangi babadde mu DP ne FDC era bye baagala ne Lukwago by'ayagala okuggyako ng'olutalo lufubutuse mu ofiisi ndala ng'erina ebigendererwa ebyenjawulo.
EBIFO LUKWAGO BY'ALINAKO OBUYINZA
Ng'oggyeeko okulonda omumyuka we n'ebifo ebirala ebya baminisita be basatu, Lukwago alina obuyinza bunene okulondera bakkansala okukiika ku nkiiko ez'ebitongole bya gavumenti naddala ng'agoberera ebifo mu bitundu gye bava.
Loodi Mmeeya asobola okusindika kkansala ku lukiiko lw'ekitongole olusobola okumuwaayo ku nsako enzito ate n'agana okusindikayo omu gw'atayagala afune ssente ezo era bw'ogeza n'omunyiiza awandiika ebbaluwa ne bakugobayo wadde gy'okiikirira singa oba tokolagana bulungi naye.
Enkiiko ezimanyiddwa waliwo ez'amalwaliro, amatendekero aga waggulu n'amasomero ag'enjawulo.
Ekifo kya Sipiika n'omumyuka we ekibaddemu Abubaker Kawalya eyawangudde obubaka bwa palamenti e Lubaga North n'omumyuka we Bruhan Byaruhanga avuganya ku bwammeeya bwa munisipaali y'e Nakawa bino tebiriiko kubuuza aba NUP bagenda kubitwala. Ensonga nti be basinga obungi, ate be basalawo ani gwe balonda.
ABATUNUULIDDWA
Abasongeddwaamu okutwala ekifo kino nga bonna ba NUP kuliko; John Mary Ssebuwufu (Nakawa West), Moses Kataabu (Kampala Central), Zahra Luyirika (Makindye East) ne Inocent Tegusuulwa (Nakawa East).
John Mary Ssebuwufu ono emikisa gye mitangaavu olw'obumanyirivu bw'alina mu kuteesa n'okukubiriza enkiiko. Abaddeko ku bukiiko bungi okuva mu mulembe gwa Ssebaana Kizito ne mu kibiina kya DP mw'abadde ssentebe wa Kampala Central owa UYD. Ali ku lukiiko olukola emirimu mu NUP era atuula ku kitebe kyabwe e Kamwokya.
Moses Kataabu owa Kampala Central bangi batandise okumusongamu olw'okumulabamu obusobozi nti ekiseera kino ali ku lukiiko lwa Loodi Mmeeya mu kifo ekirondoola enkozesa ya ssente z'omuwi w'omusolo era Lukwago abadde amwesiga nga mmundu mmenye.
Ku mikolo mingi gwabadde atuma era yamulonda ne ku lukiiko olufuga ttiimu ya KCCA FC. Mu kibiina kya DP mweyayigira ebyobufuzi era ku mikolo mingi egya NUP akola nga kalabaalaba. Ono alina obumanyirivu mu byobufuzi okukubiriza enkiiko era abamu gwe balaba ng'alina emikisa emitangaavu.
Zahra Luyirika omukyala eyavudde e Makindye East naye bamulabamu obusobozi nga kkansala omukyala. Ono yaliko kkansala mu kisanja kya 2011 okutuuka mu 2016. Abamu bamulabamu obusobozi bunene olw'okuteesa obulungi ate alina obumanyirivu ng'asobola okumatiza bakkansala banne ne bamuwa obululu.
Munnamawulire Innocent Tegusuulwa ayingidde olukiiko ng'aliko obumansuka ate asobola bulungi okuwabula olukiiko.