
Abantu nga balwana okutaasa ttaanibboyi eyabadde alaalidde mu byuma.
POLIISI n'abadduukirize kyabatwalidde essaawa 11nnamba okutaasa ttanibboyi Abdu Sserunjogi ebyuma by'emmotoka gwe byabadde bikutte oluvannyuma lwa loole mwe yabadde okugwa ku kabenje e Lukaya ku luguudo lw'e Masaka.
Akabenje kano kaabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokusatu loole bbiri bwe zaatomereganye bwenyi ku bwenyi.
Abaabadde balwana okutaasa ttanibboyi beegattiddwaako abasawo ba Red Cross abaawadde Sserunjogi obujjanjabi ng'ebyuma bikyamukutte okusobola okumutaasa obulumi obwabadde obungi.
Akulira poliisi y'ebidduka mu Greater Masaka, Godfrey Mwesigwa yategeezezza nti omugoba wa Scania nnamba KBV 757T/ ZD 4533 eyabadde ku misinde ye yatomedde Fuso nnamba UAV 928A.
Ddereeva wa Fuso, Alex Byanyima yasimattuse n'ebisago ebisaamusaamu nga n'abaaabadde mu Scania olwavuddemu ne beemulula ne badduka.
Akulira abazimyamwoto e Masaka, Sgt. Jane Watango n'abadduukirize baasombye ebyuma ebya buli ngeri n'ebiti bye beeyambisizza okugattulula ebyuma ebyabadde bikutte ttanibboyi kyokka ne balemererwa okutuusa bwe baakozesezza amasannyalaze ne babisala ne bisobola okwetaggulula.
Abasawo abaabaddewo baawakanyizza abantu abaabadde baagala bamutemeko ekitundu ky'okugulu ekyabadde kiwagamidde mu byuma nti bamuyamba obutafa nga bagamba nti kikontana n'enkola y'ekisawo eyawa omuntu kennyini omukisa okwesalirawo era ng'alina n'okussaako omukono okukakasa ky'asazeewo.
Ensiitaano eno yatandise ku ssaawa 6:00 ez'ekiro akabenje we kaabeereddewo okutuusa ku ssaawa 4:00 ez'oku makya bwe baasobodde okumuggyayo.
Abasawo ba Red Cross baamuddusizza mu ddwaaliro ekkulu e Masaka olwo poliisi n'eddamu okusiitaana n'okugattulula mmotoka zombi nga Fuso yabaddeko ebintu by'amaduuka so nga Scania yabaddeko kasooli ow'empeke.
Ddereeva Byanyima yategeezezza nti owa Scania yamulumbaganye ku mukono gwe gye yamutomeredde ng'awugula mmotoka endala ey'amafuta eyabadde eweta ku ssundiro ly'amafuta n'amutwalaganya mu kiwonko.
Omubaka wa Gavumenti e Kalungu, Pastor Caleb Tukaikiriza yasabye abagoba b'ebidduka okwewala okuvugisa ekimama n'obutavuga ndiima bawen'abalala eddembe ery'okukozesa enguudo.
Abasuubuzi Abdu Wahab Lukwago, Michael Julunga ne Molly Namagembe ab'e Lyantonde beebazizza poliisi olw'okutaasa emmaali yaabwe n'etabbibwa kyokka ne banyolwa olw'eyatomedde abantu baabwe.
Abooluganda lwa Sserunjogi okuli, Aisha Nakagiri ne Haawa Najjuma amaziga gaabayiseemu nga batidde nti obulamu bwe buggwaawo.