TOP
  • Home
  • News
  • Ssaabadinkoni w'e Lugazi agumizza abaawanguddwa mu kalulu

Ssaabadinkoni w'e Lugazi agumizza abaawanguddwa mu kalulu

Added 26th January 2021

Serubula ne Mukyala we, Faridah nga beebaza Katonda olw’obuwwanguzi. Ku katuuti ye Can. Kityo.

Serubula ne Mukyala we, Faridah nga beebaza Katonda olw’obuwwanguzi. Ku katuuti ye Can. Kityo.

SSAABADINKONI w'e Lugazi, Can. George William Kityo agumizza abaawanguddwa mu kalulu obutakitwala bubi n'agamba nti akalulu kalamula ab'amaanyi nti n'abo abaayiseemu be baabadde ab'amaanyi mu kiseera ekyo.

Yasabye abaayiseemu obuteetwala nga ba kitalo nti kuba obuweereza bwa kiseera n'asaba
buli eyayiseemu okutuukiriza obweyamo eri abantu.

Bino yabyogeredde mu kkanisa ya St. Peters Lugazi Town Church, Stephen Sserubula omubaka eyaakalondebwa okukiikirira munisipaali y'e Lugazi bwe yabadde yeebaza Katonda olw'obuwanguzi.

Serubula eyabadde ne ffamire ye, yasiimye Katonda okumutuusa ku bukulu obwo ne yeebaza n'Abakulisitaayo abamubeereddewo ne bwe baamusiba mu kkomera e
Kawuga mu kampeyini. Yeeyamye obutabajuza.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...