TOP
  • Home
  • News
  • A'b'e Kabowa basabye Mmengo okugonjoola ensonga z'ekitawuluzi

A'b'e Kabowa basabye Mmengo okugonjoola ensonga z'ekitawuluzi

Added 26th January 2021

Omutaka Kyoloobi (ku ddyo) ng’ali ne Ali Ssempungu (wakati) Ssentebe wa Wankulukuku Zzooni e Kabowa. Emabega kye kizimbe kye basaba kibaddizibwe.

Omutaka Kyoloobi (ku ddyo) ng’ali ne Ali Ssempungu (wakati) Ssentebe wa Wankulukuku Zzooni e Kabowa. Emabega kye kizimbe kye basaba kibaddizibwe.

ABATUUZE b'e Kabowa basabye Mmengo egonjoole ensonga y'ekitawuluzi kyabwe baddemu okukikoleramu emirimu gy'Obwakabaka.

Omwami w'omuluka Ssaabagabo Kabowa, Lawrence Kyoloobi yategeezezza
nga bwe bamaze ebbanga nga basaba ekifo kino kibaddire oluvannyuma lw'okuwambibwa
aba ffamire y'omugenzi Yosia Tabula Kizito.

"Tukoleddwa bubi olw'okuba nti ekitawuluzi kino tekikyakolerwamu emirimu gya Kabaka, okweyambisibwa ekitundu mu kiseera ky'okulonda n'ebirala," Kyoloobi bwe yategeezezza.

Omwogezi wa BLB, Denis Bugaya yategeezezza Bukedde ng'ensonga zino bwe
zaayingirwamu emyaka etaano emabega kyokka ne wabeerawo oludda olutaamatira,

Obwakabaka bwasalawo okuddamu okuteekawo akakiiko akakulemberwa Omukungu Levi Zzimbe okuddamu okunoonyereza ku bwannannyini bw'ekifo kino.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mabiriizi ng’agasimbaganye ne Ssaabalamuzi Dollo (ku ddyo).

▶️ Ssaabalamuzi Dollo ale...

SSAABALAMUZI Alfonse Owinyi Dollo agaanidde mu musango gwa Kyagulanyi Ssentamu n'agamba nti, yadde yawolerezaako...

Kyagulanyi ng’ayogera ku kuggyayo omusango.

Bobi okuggyayo omusango kik...

JUSTINE Kasule Lumumba, ssaabawandiisi wa NRM alangidde omubaka Robert Kyagulanyi obwannakigwanyizi olw'okuggyayo...

Abamu ku bannannyini masomero abeetabye mu lukiiko.

▶️ Ebisaliddwaawo mu lukii...

ABAKULIRA amasomero g'obwabannannyini bapondoose ne bakkiriziganya ne gavumenti okugaggulawo nga March 01, 2021...

Sipiiika (wakati) n’ab’amasomero.

▶️ Ab'amasomero ga nassale...

EKIBIINA ekigatta ebitongole ebikola ku nkuza y'abaana bagenze mu Palamenti ne beemulugunya olwa gaumenti okugaana...

Abatuuze ne poliisi ga bali we battidde Amolo.

▶️ Asse mukazi we n'amutem...

ASIKAALI ku kitebe kya UMEME e Mpigi asozze mukazi we ebiso mu bulago n'amutta oluvannyuma n'amutemako emikono...