
Poliisi n’abatuuze b’e Kitega nga bayamba omukazi mmotoka gwe yawabyeko.
Mmotoka ya buyonjo ewabye n'egwa ne yeefuula nga bw'ekkirira mu kikko ne yekkata ku muti. Abaagirabye ng'egwa baayanguye okukkirira wansi okuyamba abaabaddemu kyokka ne basanga obuzibu olw'engeri gye yaguddemu nga yeefudde.
Mmotoka eno ekika kya Rav 4 yabaddemu omukazi omu eyabadde agivuga era abadduuki-rize we baatuukidde ng'enkoba zimukutte kwe kumuyamba ne bamusumulula wabula n'asooka agaaniramu nga kirabika yabadde ne ssente ng'atya okuzimubbako.
Oluvannyuma poliisi yatuuse n'emuggya mu mmotoka ne bamutwala mu ddwaaliro e Kawolo. Akabenje kaagudde mu maduuka g'e Kitega mu kikko ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.