TOP
  • Home
  • News
  • Poliisi by'esazeewo ku kuva mu maka ga Kyagulanyi

Poliisi by'esazeewo ku kuva mu maka ga Kyagulanyi

Added 26th January 2021

Balooya ba NUP abakulembeddwaamu Ssegona (ku kkono) nga bakonkomalidde wabweru wa ggeeti.

Balooya ba NUP abakulembeddwaamu Ssegona (ku kkono) nga bakonkomalidde wabweru wa ggeeti.

POLIISI ekkirizza okuva mu maka ga Kyagulanyi wabula n'etegeeza nti yaakusigala ng'emutambulizaako amaaso.

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yagambye nti, bagenda baakusigala nga bamutaddeko eriiso ejjogi era singa anaakwatibwa mu kikolwa ekimenya amateeka, waakuvunaanibwa.

Eggulo, omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala, Michael Elubu, yasaze omusango balooya ba Robert Kyagulanyi Ssentamu gwe baaloopa Gavumenti n'ebitongole by'ebyokwerinda okusibira omuntu waabwe awaka awatali musango.

Omulamuzi mu nsala ye, yanenyezza ebitongole by'ebyokwerinda okuggalira Kyagulanyi mu maka ge n'agamba nti, bw'aba alina omusango, bayite mu makubo amatuufu bamutwale mu kkooti.

Yagasseeko nti, amaka ga Kyagulanyi si kkomera era si kaduukulu ka poliisi ssemateeka by'alambika okusibiramu abazzizza emisango n'alagira abaserikale abaateekebwayo baggyibwe ewa Kyagulanyi aweebwe eddembe lye okwetaayiza mu nsi ye.

  Abaserikale Nga Baggya Emisanvu Gye Baali Baateeka Mu Kkubo Erigenda Mu Maka Ga Kyagulanyi.

Bannamateeka ba Kyagulanyi baalaze okutya nti, wadde kkooti ewadde ekiragiro, poliisi y'erina okukiteeka mu nkola ate nga mu kiseera kye kimu, gye bavunaana ne bagamba nti, eyinza obutavaayo.

Steven Ssenkeezi omu ku bannamateeka yagambye nti, ekirina okukolebwa kutwala kiragiro kino eri abakulira eby'amateeka mu poliisi ne UPDF ssaako atwala poliisi y'e Magere okuggyawo ebyekwaso nti tebaafuna kiragiro bwe balema okukiteeka mu nkola olwo baggulweko emisango ng'abantu.

Wabula Enanga yagambye nti, "Ng'ekitongole ekigoberera n'okukwasisa amateeka tufunye ensala okuva mu kkooti enkulu yadde tetunnafuna kkopi mu butongole abaserikale baffe ababadde e Magere tubaggyeeyo naye ne Kyagulanyi agoberere amateeka era bw'anagaana tujja kumuvunaana."

Yagambye nti poliisi okusibira Kyagulanyi awaka nga January 15, baafuna amawulire nti yalina entekateeka z'okwekalakaasa n'okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka ng'okulonda kuwedde.

Yayongeddeko nti, tebalina nteekateeka ya kumulemesa kutambula n'okukola emirimu gye kasita teyeenyigire mu bikolwa bya bumenyi bw'amateeka.

Abeebyokwerinda baagaana Kyagulanyi ne mukyala we Barbie Itungo okufuluma awaka nga January 15 n'abagenyi bonna ne babagaana okubalaba nga muno mwe mwali n'omubaka wa Amerika mu Uganda, Natalie E. Brown, bannamateeka, bannabyabufuzi okuli Lt. Gen. Henry Tumukunde, abawagizi ba NUP n'abalala ekyawaliriza bannamateeka okwekubira enduulu mu kkooti.

Abaserikale ba poliisi n'ab'amagye bayiibwa okuva ku kkubo erikyama ewa Kyagulanyi e Magere ku Freedom Avenue okutuuka ku ggeeti y'ekikomera kya Kyagulanyi nga tebaganya muntu yenna atuukawo.

Omuduumizi w'ebikwekweto bya poliisi AIGP Edward Ochom yasooka kusaba kkooti bw'eba ya kukkiriza Kyagulanyi okutambula, emuteekeko obukwaKkulizo kubanga yali ateeka obulamu bw'abantu abalala mu matigga g'okukwatibwa obulwadde bwa Corona.

Kyokka, omulamuzi Elubu bwe yabadde awa ensala ye, yagaanye okuteeka akakwakkulizo konna ku Kyagulanyi n'agamba nti, poliisi bw'eba emulinako emisango egyekuusa ku kusaasaanya Corona, emutwale mu kkooti omulamuzi anabeera mu musango asalewo oba asindikibwa mu kkomera oba nedda.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omu ku bakyala eyakulembedde banne abafumba emmere mu katale k'e Wandegeya ng'alaajanira pulezidenti Museveni okuyingira mu nsonga ezibasoomooza mu katale.

Abakyala balaajanye ku mivu...

"Twagala pulezidenti ayingire mu nsonga zaffe kubanga tetuganyuddwa mu nteekateeka zonna ze yateeka mu katale...

Fr. Kabagira ne Fr. Henry Mubiru nga bassa ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga bwe baabadde bamujjukira.  Yafa nga February 22, 1966.

Abakkiriza bajjukidde Ssaab...

Ssabasumba Kiwanuka yafuuka ssaabasumba okuva mu 1960 okutuuka bwe yafa mu 1966.

Amagye nga gazinzeeko enfo omubadde mutenderwa ababbi mu kibira kye Kapcheli.

Amagye galwanaganye n'ababb...

Mu kikwekweto ekyakoleddwa amagye ne poliisi, baazingizza ekibira ky'e Kapcheli abazigu bano mwe babadde beekweka...

Emmotoka ng'eno erina okuba n'ebiwandiiko ku ngeri gye yafunamu akabenje.

Buli mmotoka eyagwa ku kabe...

Minisitule y'eby’enguudo n'entambula esabiddwa okubaga amateeka mwe bagenda okuvunaanira buli muntu anasangibwa...

Omubaka Ocan ng'akwasa Kalidinaali ebirabo.

Kalidinaali asiimye Omubaka...

KALIDINAALI Emmanuel Wamala alabiseeko mu lujjudde oluvannyuma lw’ebbanga ng’abantu bamwebuuza. Kalidinaali okulabikako...