TOP
  • Home
  • News
  • Ekiwanguzza abanene mu kalulu ka mmeeya

Ekiwanguzza abanene mu kalulu ka mmeeya

Added 26th January 2021

Joyce Ssebuggwawo (wakati) ng’ava okulonda.

Joyce Ssebuggwawo (wakati) ng’ava okulonda.

Abanene okuli mmeeya w'e Lubaga, Joyce Ssebuggwawo 65, owa FDC bagudde mu kalulu ka Bammeeya eggulo. Mmeeya wa Makindye Ssaabagabo Gerald Lumbuye Nsubuga, eyaliko Mmeeya wa Kira, Mamerto Mugerwa, Charles Musoke Serunjogi abadde mu Kampala Central nabo baagudde.

Okufaanana n'akalulu ka Pulezidenti n'okulonda ababaka ba Palamenti, akalulu kano kaayisizza bubi abaludde mu bifo. Muky. Ssebuggwawo (FDC) yaakamala ebisanja bibiri kyokka nga wamaanyi naddala mu Buganda kubanga ye mumyuka wa ssentebe wa FDC, aweerezza nga minisita e Mmengo okumala ekiseera ate nga yasooka
mu KCCA.

Okuwangula abanene bano bakibateekako nti tebakyalina kipya; abalonzi naddala abavubuka balowooza nti ekiseera kituuse abakadde badde ebbali olwo abavubuka bakwate enkasi.

Ebizibu ebinyiga abantu naddala mu bibuga okuli okuyoola kasasiro, ebbula ly'emirimu, enguudo embi, amazzi aganjaala ng'enkuba etonnye gattako emyala egizibikidde
n'okubomoka.

Amateeka agafuga ebibuga agakaluubiriza bamufunampola okukolera mu bibuga, emisolo gy'amayumba n'abakwasisa amateeka (aba KCCA) okutulugunya abatembeeyi n'abatunda obuntu obutono ku nguudo.

William Byarugaba omutunuulizi w'ebyobufuzi agamba nti; mu Kampala, abantu nga Ssebuggwawo bayisiddwa bubi omuyaga gwa NUP oguwulira olulimi lumu lwa manvuuli. Atali wa manvuuli tebamulabawo.

"Kyagulanyi okumusibira awaka n'okumugaana okukuba kampeyini naddala mu Kampala, bangi aba FDC baakisanyukira wadde nga beeyisaako mu lujjudde. Bakimanyi nti Kyagulanyi okubaawo alina engeri gy'anafuya ekibiina kyabwe oba okusuula abantu be basimbyewo," bwe yagambye.

Kyokka yagambye nti olw'okuba omuyaga gwa NUP gw'amaanyi y'ensonga lwaki omuntu ne bw'abeera mu kkomera era awangula aba FDC ababa beesimbyewo.

Embeera eno yagambye nti eyinza obutakyuka kuba FDC eneegenda okuva mu kulonda ng'eweddewo mu Kampala.

Kyokka abakulembeze abafaayo ku nsonga z'abantu nga Salim Uhuru (NRM) eyeesimbyewo mu Kampala Central baakoze bulungi kubanga babatunuulira
ng'abafaayo ku biruma abantu.

Yalabudde nti ne Loodi Mmeeya Erias Lukwago kino ekisanja kye kye kisembayo, kubanga takyalina kipya ate ng'abalala bangi beegwanyiza ekifo ekyo.

Byarugaba yagambye nti ebisanja ebisatu Mamerto Mugerwa kye yakulembera e Kira abantu balaba nga yafuga ekimala era takyalina kipya ky'ayinza kubakolera.

Ekyokubiri Mugerwa agenze okujja ng'abantu banyiivu eri Gavumenti era baagala kusuula buli wa NRM nga bakozesa NUP naddala mu Buganda.

Charles Sserunjogi Owa Kampala Central Ng'alonda.

Kuno gattako ekyokusibira Kyagulanyi awaka, abantu beebuuza kye bayinza okumusasula nga tebakiraba okuggyako okulonda aba NUP ku buli kifo.

"Abantu balowooza nti aba NRM be bayigganya omuntu waabwe Kyagulanyi kuno bagattako obubaka bwa Kyagulanyi bwe yabaweereza ku social media ng'alagira okulonda aba NUP bakirage nga balina okubalonda kuba ye mukulembeze gwe
baalonda," bwe yagambye.

Lubwama Mukubyasi agamba ekisudde Mmeeya Lumbuye kwe kusigala ng'ali ne Nobert Mao owa DP so ng'ekitundu ky'alimu kyalonze Kyagulanyi mu kya pulezidenti
n'omubaka eyawangudde yabadde Serukenya owa NUP.

Yagasseeko nti Lumbuye yafunamu obutakkaanya n'omubaka Kigozi Ssajjalyabeene nga Lumbuye yasalawo obutawagira Ssajjalyabeene bwatyo n'abawagizi
ba Ssajjalyabeene ne basalawo okwesasuza.

Musa Zimbe ssentebe w'omuluka gwe Nakulabye yagambye nti wadde nga Ssebuggwawo abadde mukozi era ng'ategeera abantu talina ngeri gy'abadde ayinza kuwona muyaga.

"Omuyaga ogwazze gubadde tegutaliza nga gutikkula n'ebiri mu bire era mukazi wattu bwatyo yagendedde mu maanyi," Zimbe bwe yagambye.

                      Buruham Byaruhanga Yavuganyizza Ku Bwammeeya E Nakawa.

Ensonga endala by'ebizibu bya munisipaali ebimerukawo buli olukya. Nga ne bw'oba mukozi, bw'okola oluguudo wayita wiiki ntono enkuba n'eruwomoggolamu
ebinnya.

Bammeeya nga Mutebi eyawangudde Mamerto, Regina Bakitte (Nansana) bakomyewo lwa kubanga baalabuka ne beegatta ku NUP.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...