TOP
  • Home
  • News
  • Abawangudde mu Kampala beetala

Abawangudde mu Kampala beetala

Added 26th January 2021

Ali Nganda Mulyannyama (NUP) awangudde ekya  mmeeya wa Makindye.

Ali Nganda Mulyannyama (NUP) awangudde ekya mmeeya wa Makindye.

EBYABADDE byakava mu kubala obululu mu kulonda bammeeya ba munisupaali za Kampala byabadde biraga nti Joyce Ssebuggwawo owa Lubaga ne Charles Musoke Serungogi owa Kampala Central baabadde bawanguddwa.

Wabula ye Meeya wa Kawempe Emmanuel Serunjogi Oweddembe ow'e Kawempe n'owa Makindye Haji Ali Nganda Mulyannyama bawangudde n'obululu bungi.

Akakiiko k'ebyokulonda kalangiridde mu butongole ebyavudde mu kalonda  era ttiimu y'abasasi ba Bukedde abaabadde mu bitundu eby'enjawulo baakuηηaanyizza ebimu ku byalangiriddwa.

MBERAZE AMEZZE SSEBUGGWAWO
E Mutundwe C/U, Mberaze (NUP) yafunye 287 ate Nabbosa (FDC) 229. E Kikaaya zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyeewo 260 ate Nabbosa 147.

Mu Aggrey zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyewo 156 ate Nabbosa 70. Embeera y'emu ye yabadde mu Kironde zooni e Kabowa, Mberaze we yafunye 459 ate Nabbosa 158. Mu Nsiike zooni mu Ndeeba, Mberaze yafunyeewo 303 ate Nabbosa 102.

Abalonzi obwedda bagamba nti wadde nga Nabbosa abadde muweereza mulungi, kyokka ekiseera kituuse bawe ku musaayi omuto.

Kyokka waliwo n'abalala obwedda abawulirwa nga bagamba nti tebaagala kumanya ekyabatutte kulonda manvuuli, abamu gwe bayita omuyaga ogukunta.

"Nze sifaayo ne bwe nsanga ku kalulu nga kuliko ekifaananyi kya Fred Enanga omwogezi wa poliisi, kasita abeerako manvuuli nnonda bulonzi" omulonzi omu bwe yasesezza banne.

MAKINDYE
Mmeeya wa Makindye, Hajji Ali Kasirye Nganda Mulyannyama (NUP) awangulidde waggulu. Yalondedde ku Ttaawo Polling Station e Katwe Banne bwe baavuganyizza okwabadde wabadde Moses Kalungi Kirumira owa DP ne Muzafaru Kiyemba, sipiika w'olukiiko lwa munisipaali eyazze nga talina kibiina obwedda abakubira wala.

Salim Uhuru (nrm) Awangudde Mu Kampala Centra At Eku Ddyo Mu Katono Ye Amdan Ssemugooma (nup) Yawanguddwa

Emmanuel Sserunjogi Oweddembe (nup) Ng'alonda Eggulo. Ye Yawangudde Ekya Mmeeya Wa Kawempe. Ku Kkono Ye Mukyala We.

Kiyemba yalabise ng'eyabadde teyeekakasa kuba olwamaze okulonda yategeezezza bannamawulire nti bwe bamuwangula tajja kwewuunya okusinziira ku muyaga gwa NUP mu Kampala.

E Bukasa A-M, Mulyannyama yafunyeewo 133, Bob Muhumuza owa NRM -92, Kalungi-34.

KAMPALA CENTRAL
Charles Musoke Sserunjogi meeya wa Kampala Central yakoze bulungi mu muluka gw'e Kamwokya wabula mu bitundu ebirala okuvuganya kwabadde wakati wa Salim Uhuru owa NRM ne Hamdan Semugooma Kigozi owa NUP.

                                  Lubaga Nakawa

Wadde nga Uhuru yakoze bulungi mu Kisenyi, kyokka e Nakasero mu katale n'ebitundu ebiriranyewo, Semugooma yabadde awanguddewo.

NAKAWA
Paul Mugambe NUP, yalondedde ku zooni ya Agaati e Luzira era ebyavudde mu bitundu
ebisinga obungi byalaze nga yabadde akyakulembedde. Obwedda okusinga addirirwa Bruhan Mugisha owa NRM ne Florence Mungi Namata abadde omumyuka wa meeya we Nakawa. Mutungo zooni 2, Kiduuka, mugambe 505, Byaruhanga-147,

KAWEMPE
Emmanuel Sserunjogi owa NUP obwedda awangulira waggulu buli wamu. Mu muluka gwa Makerere III ku Poling Station ya St. Nicholas ng'erina ebifo bisatu we balondera
ekifo ekisooka Sserunjogi yafunye obululu 191 amuddiridde Ashiraf Kiwanuka Jjuuko 51. Ekyokubiri Sserunjogi afunye 184, Kiwanuka n'afuna 65. Ekirala yafunye 168
ate Kiwanuka 54.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...