TOP
  • Home
  • News
  • Ab' e Ntebe beekalakaasizza olwa NRM okuwangulwa, 3 bakubiddwa amasasi, omu mufu

Ab' e Ntebe beekalakaasizza olwa NRM okuwangulwa, 3 bakubiddwa amasasi, omu mufu

Added 26th January 2021

Abawagizi ba Mutebi owa NRM nga beekalakaasa mu kibuga e Ntebe oluvannyuma lw'okuwangulwa Fabrice Rurinda.

Abawagizi ba Mutebi owa NRM nga beekalakaasa mu kibuga e Ntebe oluvannyuma lw'okuwangulwa Fabrice Rurinda.

Embeera mu kibuga ky'e Ntebe  etabuse oluvannyuma lw'akakiiko k'ebyokulonda okulangirira Fabrice Rurinda eyajja nga talina kibiina mwajjidde, nga Meeya w'e Ntebe omulonde.

Abalonzi ng'abasinga ba NRM bagamba nti tebayinza kukkiriza Fabrice kubakulembera kubanga bbo bakimanyi nti yabadde waakuna kyokka bugenze okukya ng' alangiriddwa ku buwanguzi. 

Bano basazeewo okwekalakaasa ku makya ga leero era abantu basatu ne bakubwa amasasi ekivuddeko omu amanyidwa nga Eric Kyeyune okufa era ng'ono abadde muwagizi wa NRM .

      Eric Kyeyune Attiddwa.

Jesca Kankunda Ng'agezaako Okukkakkanya Embeera.

Okuvuganya okw'amaanyi kubadde wakati wa Micheal Mutebi owa NRM ne Kayanja Vincent DePaul nga Ono ye Meeya aliko nga wa kibiina kya DP era we bwazibidde nga Kayanja yali waggulu.

Jesca Kankunda okuva mu state house azze okukkakkanya abawagizi ba NRM n'agamba nti bagenda kulangirira omuntu omutuufu era nti omukulembeze w'eggwanga ayingidde mu nsonga eno .

Ono agambye nti akulembeddemu okukuba amasasi waakuvunaanibwa ng' omuntu naye n'asaasira abafiiriddwa omuntu waabwe .

Ye akulira poliisi y'e Ntebe, Kasigire Micheal agambye nti baliwo kukuuma mirembe n'agattako  nti embeera eno ebadde esobola okukkakkanyizibwa nga tebakozeseza wadde ttiyaggaasi .

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

'cokoleti'

Omufumbi wa Kkwiini ayoged...

KKWIINI Elizabeth II ayagala kkeeki erimu ekirungo kya ‘chocolate' wabula okusinziira ku biragiro by'abasawo waakiri...

Fr. Anthony Musaala (ku ddyo) ng’abuuza ku Kiwanda ne Ying. Joseph Ssewava oluvannyuma lwa Mmisa mu Lutikko e Lubaga.

▶️ Mutusonyiwe bye twayog...

AMYUKA ssentebe wa NRM mu Buganda, Godfrey Kiwanda Ssuubi yeetondedde Eklezia olw'okusowagana okwaliwo mu kiseera...

Abamu ku batuuze nga bali mu maka g’omubaka Betty Nambooze (mu katono).

Ab'e Kigombya balabudde Gav...

ABATUUZE ku kyalo Kigombya mu disitulikiti y'e Mukono, bawadde gavumenti nsalessale ya myezi ena okutuuka mu mwezi...

Emmotoka ya Kyagulanyi (mu katono) empya.

Enkalu zeeyongedde ku mmoto...

EBY'EMMOTOKA ya Bobi Wine bijjulidde kkooti erina okuyisa ekiragiro ekiwaliriza nnannyini yo okugizzaayo mu kitongole...

Muzaata ne Bakazi be Kluthum ne Bugirita

Ekiraamo kya Muzaata kirees...

SHEIKH Umar Swidiq Ndawula asomye ekigambibwa okuba ekiraamo kya Sheikh Nuhu Muzaata ne kyongera okusajjula embeera...