
Nakidde n'abawagizi be nga b'atabuse.
Wabaddewo olutalo mu kulangirira obululu mu zooni ya Kironde e Kabowa, mu munisipaali y'e Lubaga, omu ku beesimbyewo ku kifo kya kkansala omukyala ow'omuluka gwa Kabowa I Sylvia Nakidde, eyawangudde mu kifo kino bwe yatuuse okunona empapula kwe bassa ebirangiriddwa mu kulonda (DR forms) kyokka n'akizuula nga bamuwadde 'fotokopi' ate nga banne abalala be yabadde asinze bbo balina 'origino'.
Yasitudde olutalo n'ayombera waggulu ng'agamba nti baabadde baagala kubba obuwanguzi bwe.
Enduulu yasitudde poliisi y'e Kironde ne Kabowa n ebamuwooyawooya, era oluvannyuma abalondesa ne bamuwa 'form' eya 'origino' embeera n'edda mu nteeko.
Nakidde owa NUP ye yawangudde ekifo kino, ekya kkansala omukyala owa Kabowa I .