TOP
  • Home
  • News
  • Akafubo ka Kyagulanyi n'ababaka ba NUP

Akafubo ka Kyagulanyi n'ababaka ba NUP

Added 27th January 2021

Bobi ng’ali ne mukyala we, Barbie Itungo eggulo.

Bobi ng’ali ne mukyala we, Barbie Itungo eggulo.

AKAFUBO ka Kyagulanyi n'ababaka ba NUP kaasinze kutambulira ku kiki kye bazzaako oluvannyuma lw'akalulu okuggwa.

Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu bukulu bwe nga Pulezidenti w'ekibiina kya NUP yayise ababaka 61 abaayitiramu ku kkaadi y'ekibiina ky'akulira era abasinga obungi bazze.

Guno gwe gwabadde omulundi ogwasoose abantu okukkirizibwa okutuuka ewa Kyagulanyi okuva akalulu ku Bwapulezidenti lwe kaakubwa era abaserikale ne basalako amaka ge ne bamalawo ennaku 12 okutuusa kkooti lwe yawadde ekiragiro ekibagobawo.

Akafubo kano kaalina okubeerawo amangu ddala ng'akakiiko k'ebyokulonda kaakalangirira ebyava mu kalulu wabula ababaka abaagendayo baalemesebwa okutuuka ewa Kyagulanyi era omubaka wa Mityana Francis Zaake yafuna ebisago eby'amaanyi ng'agamba nti yatulugunyizibwa abaserikale abaamukwata ng'agenda ewa Kyagulanyi.

EBYABADDE MU KAFUBO
Kyagulanyi yasoose kwogerako ne bannamawulire, oluvannyuma ne yeesogga akafubo n'ababaka, wabula akafubo kano kaabadde ka kyama.

Ensonda zaategeezezza nti ekibuuzo ekinene Kyagulanyi kye yatadde mu ddiiro kyabadde kya kusalawo kye bazzaako nga bagoberera ebyalangirirwa akakiiko
k'Omulamuzi Simon Byabakama ebyava mu kalulu akaakubwa nga January 14, 2021 bwe yalangirira Pulezidenti Museveni ku buwanguzi era Kyagulanyi ng'ali mu kifo
kyakubiri n'obululu obukunukkiriza ebitundu 35 ku buli 100.

Kyagulanyi (ku Kkono) N'abamu Ku Babaka Ba Nup

Omu ku baabadde mu lukiiko luno olwakubiriziddwa Kyagulanyi yennyini yategeezezza Bukedde nti ensonga y'okutwala omusango mu kkooti ye yasinze okubeerako enkalu.

Abamu baabadde bagamba nti okugenda mu kkooti kubeera kumala budde kubanga tebalabawo mbeera ya balamuzi kusazaamu buwanguzi bwa Museveni.

Kyokka abalala baabadde basemba eky'okugenda mu kkooti nga bagamba nti kijja kwongera okukuba ebituli mu buwanguzi bwa Museveni nga NUP eyanjudde obujulizi bwonna bwe baakungaanya ne babwoleka ensi yonna ku bubbi bw'obululu bwe
balumiriza nti bwali mu bitundu by'eggwanga ebiwerako.

Baasazeewo okwongera okwebuuza ku bantu abalala be bakolagana nabo okufuna endowooza yaabwe balyoke basalewo ekisembayo.

Kyokka bonna bakkaanyizza nti bagenda kusigala ku mulamwa gw'okulwanirira enkyukakyuka mu ggwanga nga bayita mu nkola ezikkirizibwa mu mateeka.

Baasazeewo n'okwongera amaanyi mu kaweefube w'okulwanirira aba NUP abali
mu makomera basobole okuyimbulwa era mu bano mulimu Eddie Mutwe (Ssebuufu) eyali akulira ebyokwerinda bya Kyagulanyi, Nubian Li, n'abalala omuli n'abo abaawangudde nga bali mu makomera basobole okuyimbulwa.

 Akanyonyi Ka Poliisi Bakira Akeetawula Waggulu W'amaka Ga Kyagulanyi E Magere Gye Yasisinkanidde Ababaka Ba Nup Ku Lwokubiri.

Mu kafubo ako era abaalondeddwa ku bubaka baasazeewo okuwaayo omutemwa ku nsimbi z'emisaala gyabwe egya buli mwezi nga bazizza mu nsawo y'ekibiina okukisobozesa okutwala kaweefube w'okuleeta enkyukakyuka abaabawadde obululu gye baagala.

Wabula tebaasazeewo bungi bwa ssente buli mubaka z'anaawaayo ne kisindikibwa eri eggwandiisizo lya NUP okuvaayo n'emiwendo gikubaganyizibweko ebirowoozo.

Kyasaliddwaawo abaalondeddwa babategekere emisomo ku buvunaanyizibwa bwe boolekedde n'enkola za Palamenti gye bagendamu era omubaka Matthias Mpuuga ne Muwanga Kivumbi ne baweebwa obuvunaanyizibwa okukulemberamu kaweefube w'okubangula ababaka ku nzirukanya ya Palamenti.

Kyokka era baasazeewo n'okussaawo akakiiko akakwasisa empisa okutunula mu kwemulugunya okuzze kutwalibwa mu bakulembeze b'ekibiina abaasalawo okulekawo abeesimbirawo ku kkaadi y'ekibiina (manvuuli) ate ne bawagira abeesimbiddewo mu bibiina ebirala.

KYAGULANYI AGUMIZZA ABAWAGIZI

MU bubaka bwe yategeezezza bannamawulire nga tannagenda mu kafubo n'ababaka, Kyagulanyi yagambye nti alina essuubi nti enkyukakyuka egenda kubeerawo ng'omwaka guno tegunnaggwaako, wabula teyalambuludde makubo ge bagenda kuyitamu okuleeta enkyukakyuka ezo.

Yalabudde abaawangudde bonna nga bali ku kkaadi ya NUP okusigala nga banywevu wakati mu kusoomoozebwa okuliwo omuli okukwatibwa ne basibwa n'abategeeza nti tebalina kuwugulwa kuva ku kirooto eky'okuyingiza Bannayuganda mu Uganda Empya kubanga ky'ekyabaweesezza akalulu.

Yagambye nti kyamukoze bulungi okuwangula omusango ogwagobye abaserikale mu maka ge e Magere we yasisinkanidde ababaka era n'agattako nti okusisinkana ababaka ba NUP ku lunaku NRM lwe yawamba obuyinza mu 1986 kikwatagana bulungi n'omulamwa gwe baliko nga NUP okununula Bannayuganda mu Gavumenti eyawamba obuyinza bw'abantu emyaka 35 egiyise.

Waliwo ennyonyi nnamunkanga obwedda eyita okumpi n'amaka ga Kyagulanyi era Kyagulanyi yagambye nti byonna bikolebwa kumutiisatiisa naye waakugenda mu maaso ne kaweefube w'okuleeta enkyukakyuka.

Yeebazizza ebitongole eby'enjawulo okuli United Nations, European Union, Ekitebe kya Amerika mu Uganda, Amnesty International n'abalala abaavuddeyo nga bawakanya eky'abaserikale okusibira Kyagulanyi mu makaage.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kato nga bamwaniriza mu kigo ky’e Kamwokya.

"Musabire abakulembeze bamm...

KAABADDE kaseera ka ssanyu ate n’okunyolwa ku kigo ky’e Kamwokya, Abakristu bwe baabadde baaniriza Bwannamukulu...

Abakungubazi nga batunuulira ekifaanayi ky’omwana eyattiddwa.

Bawambye omwana ne bamutta

ABATEMU bawambye omwana ow’emyaka mukaaga ne bamutta mu bukambwe, omulambo ne bagwambulamu engoye. Rosemary Ngambeki...

Joseph Ssewungu (ku kkono) ne Latif Ssebaggala nga baliko bye babuuza minisita Jeje Odong (ku ddyo) ku lukalala lw’amannya g’abantu abatalabikako lwe yasomye mu Palamenti.

Ensonga z'ababaka 10 ezitan...

ABABAKA bawadde ensonga 10 lwaki tebamatidde lukalala olwayanjuddwa minisita w’ensonga z’omunda olulaga abantu...

Abaserikale nga batwala omulambo gw'omuwala.

Bagudde ku mulambo gw'omuwa...

ABATUUZE ku Kyalo Kakerenge mu Ggombolola y’e Gombe mu disitulikiti y’e Wakiso baguddemu ekyekango bwe bagudde...

Abatuuze nga baziika Ssali.

Amasasi ganyoose nga poliis...

Amasasi ganyoose nga poliisi y’e Wakiso egumbulula abatuuze abaaziikudde omulambo nga bagamba nti famire teyinza...