
Katabaazi (awanise omukono) ne balooya be oluvannyuma lw'obuwanguzi.
KKOOTI e Masaka yayimirizza okuddamu okubala obululu bwa Kalungu East lwa kusanga bbokisi nga mmenye.
Omulamuzi atwala abalamuzi abato e Masaka, Charles Yeitesi ye yayimirizza okubala obululu oluvannyuma lw'okusanga nga bbokisi ya Agip Cell yamenyebwa era ebadde tesobola kweggala.
Bokisi eno yazuuliddwa omu ku baali bavuganya mu kalulu kano Umar Lule Mawiya ono ng'olwategedde nti Katabaazi bamututte mu kkooti naye n'ajja n'empapula okulangirirwa ebivudde mu kulonda asobole okugeraageranya n'ebyo ye bye yafuna.
Wadde munnamateeka wa Minisita, Geoffrey Kandebe yabadde agezezzaako okwetaasa nti bbokisi yandiba ng'emenyekedde ku mmotoka wakati mu kuzitambuza n'okuzitikkula okuva e Kalungu, bino omulamuzi teyabiwulirizza n'alagira buli ekibadde kigenda mu maaso kiyimirizibwe.
Omulamuzi Yeitesi ku Mmande yalagira akakiiko k'ebyokulonda n'oludda oluwawaabirwa okutambuza obululu buno okuva e Kalungu wakati mu bukuumi era nga yabadde abalabudde okuba abegendereza n'obutazzanyira ku ‘seal' ezisiba bbokisi.
Wadde nga bannamateeka ba NUP bagezezzaako okulabula omulamuzi nga ‘seal' bwezibadde tezifaanagana nga waabaddewo eza kakyungwa ne pinka wabula akulira ebyokulonda e Kalungu, Ann Namatovu yategeezezza nga kino bwe kitalina kye kikosa ebyo ebiri munda.
Mu kusooka bannamateeka ba Francis Katabaazi owa National Unity Platform nga bakulembeddwamu Chrizestom Katumba baabadde bataddeyo okusaba kwabwe nga baagala kkooti eyimirize okubala obululu buno era nga baabadde bajulidde ne mu kkooti Enkulu.
Wabula Omulamuzi Yeitesi bino yabigobye ng'agamba nti bokisi zaabadde zimaze okutuusibwa ku kkooti nga tebakyasobola kuyimiriza okuggyako okuzekebejja n'okuddamu okubala obululu.
Oluvanyuma lw'okulangirira kino, Minisita Ssempijja yalabiddwaako ng'amaanyi gamuwedde era abantu abamwetoolodde ne bamufunira akatebe akkakkane.
Francis Katabaazi yasanyukidde ekyatuseewo kyokka obuwunguzi abutadde ku Katonda n'agamba nti ye essuubi lyabadde limuweddemu nga teyeekakasa bukuumi bwa bokisi ezibadde zireeteddwa.
Bwe baayimirizza okubala, Kandebe yategeezezza nga bw'atali mweteefuteefu
kuddamu kujulira na kisaliddwawo kkooti y'e Masaka era ng'ebibye byabadde bikomye awo.
Ssempijja ng'ayita mu munnamateeka we Geoffrey Kandebe yaddukidde mu kkooti ng'agisaba baddemu okubala obululu nti ba Agent be baagobwa mu bifo ebyalonderwamu ebiwerera ddala 36 era nga n'abaakulira okulonda baali tebaalaga bawagizi be ekintu ky'agamba nti kyawa omwagaanya obululu bwe okugendera mu bwa munne eyamuwangula.
Ssempijja eyawanguddwa n'obululu obusoba mu 1000 yabadde ayagala okuddamu okubala obululu era n'akakiiko k'ebyokulonda kamulangirire ku buwanguzi basseeko n'okumuliyirira ensimbi z'asaasaanyizza mu musango guno.
Abalala abaavuganya mu kalulu kano kuliko Didas Mugooma ne Umar Lule
Mawiya abataalina bibiina.