
Pulezidenti Museveni ne Mukyala we Janet ku mukolo e Ntebe.
PULEZIDENTI Museveni akkiriza nga bwali omwetegefu okutuula n'abavuganya Gavumenti bateese ku biseera by'eggwanga eby'omu maaso.
Yabyogeredde mu maka g'obwapulezidenti bwe yabadde ayanukula Msgr. Charles Kasibante eyakulembeddemu okusaba eyamusabye wabeerewo okutabagana okwa namaddala wakati we ne bannabyabufuzi abaawangulwa.
Enkola y'okutabagana yagambye nti gyazze atambuliramu ekiseera kyonna era y'ensonga lwaki yasobola okulonda mutabani wa Idd Amin ayitibwa Thaban Amin n'amufuula amyuka akulira ekitongole ky'amagye ekikessi ekya CMI. Gattako ne muzzukulu wa Amin Thaban Idd Amin omubaka wa Palamenti ku tiketi ya NRM.
Yawadde ekyokulabirako nti lumu yakyalirako eyali Pulezidenti wa Amerika, Ronald Reagan, eyamulumiriza nga bwe yali akolagana ne Muhammar Gadafi owa Libya.
Yamwanukula nti ye yasooka okulwanyisa Gadafi n'okusinga Reagan, kyokka oluvannyuma ne bafunamu omukwano.
Eky'okuteesa Museveni yagambye nti takirinaako buzibu, kyokka ky'atayinza kukkiriza bye bikolwa by'okutiisatiisa n'ebikolwa ebitabangula emirembe.
Yabyogeredde mu maka g'obwa Pulezidenti e Ntebe ku mukolo eggwanga kwe lyajagulizza nga bwe giweze emyaka 35 bukya Gavumenti ya NRM ejja mu buyinza mu 1986.
AGENDA KWETEGEREZA EBY'OKUBBA OBULULU
MUSEVENI yavumiridde ebikolwa by'okubba obululu ebyetobeka mu kulonda okuwedde naddala okwa Pulezidenti n'ababaka ba Palamenti.
Kyokka obuzibu obusinga bwava ku bantu abaagaana okukozesa ebyuma ebyali bikebera oba ng'omuntu yali mulonzi n'okumuggyako ekinkumu.
Yalumirizza nga bwe waliwo abantu abaalemesa obuuma buno okukola mu bugenderevu n'ekigendererwa ky'okubba obululu.
"Ebyuma bino byatwala ssente za Gavumenti nnyingi okubigula. Oluvannyuma lw'okulonda tujja kuddamu twetegereze awaava obuzibu , tuzuule n'abaagaana okukozesa obuuma buno mu bugenderevu,'' bwe yagambye.
Pulezidenti yayongedde okulabula Bannayuganda okwewala ebyobufuzi by'okulowooleza mu mawanga n'amadiini bye yagambye nti bitabangudde
ensi eziwera.
Yayogedde ku nsi nga Sudan, Somalia, Nigeria ne Central African Republic ezaatabuka olw'enjawukana z'amawanga n'eddiini.
Obuwanguzi obwaleeta NRM mu buyinza mu 1986 yagambye nti tebwali bwa kibiina kyokka, wabula bwali buwanguzi bwa ndowooza.
Mu kisanja ekiddako yagambye nti agenda kulwana okulaba ng'ensi z'obuvanjuba bwa Africa nga zeegatta wamu.
Olunaku lw'Ameenunula we lutuukidde nga Museveni yaakamala okuddamu okulondebwa okukulembera eggwanga emyaka emirala etaano okutuuka mu 2026.