TOP
  • Home
  • News
  • Abawanguddwa ku bwammeeya balaze kye bazzaako

Abawanguddwa ku bwammeeya balaze kye bazzaako

Added 27th January 2021

Uhuru n’abawagizi be nga bamusitudde oluvannyuma lw’okuwangula ekya mmeeya wa Kampala Central.

Uhuru n’abawagizi be nga bamusitudde oluvannyuma lw’okuwangula ekya mmeeya wa Kampala Central.

ABAAWANGUDDWA ku bwammeeya bwa munisipaali ez'enjawulo balaze kye bazzaako oluvannyuma lw'ebyavudde mu kulonda obutabatambulira bulungi.

Vincent Kayanja De Paul eyawanguddwa ku bwammeeya bwa munisipaali y'e Ntebe agaanyi okukkiriza ebyavudde mu kulonda n'agamba nti, obubbi bw'obululu obwakoleddwa tabulabangako.

Kayanja yagambye nti, agenda kwekubira enduulu mu kkooti kuba eyalangiriddwa ku buwanguzi yabadde nnamba ssatu wabula ku ssaawa esembayo ne balangirira Frabrice Brad Rulinda ku buwanguzi.

Kayanja agamba nti bye yagasse ng'agendera ku mpapula ezaakuhhaanyiziddwa ba ajenti be, yafunye obululu 5,672 n'addirirwa Micheal Mutebi owa NRM, ate Rulinda n'afuna obululu 2,825. Yagambye nti abaserikale be baabadde emabega w'okukyusa ebyavudde mu kulonda kuno.

Tolbert Musinguzi akulira ebyokulonda e Wakiso, yalangiridde Rulinda ku buwanguzi ng'afunye obululu 6,703 n'addirirwa Michael Mutebi Kabwama owa NRM n'obululu 6,342 ate Kayanja n'afuna 5,576 ekyaggye abawagizi ba Kayanja n'aba Mutebi mu mbeera ne beekalakaasa.

Kayanja yagambye nti alina essuubi nti kkooti yaakuddiza abantu b'e Ntebe obuwanguzi bwabwe kubanga awamu abantu ba Rulinda baabadde bakyusa ebyavudde mu kalulu era awamu Rulinda we yafunye obululu 22, baagasseeko 4 olwo n'aba ng'afunyeewo 422.

WADDE BANZIBYE NAYE SIGENDA MU KKOOTI - MUSOKE SSERUNJOGI
Charles Musoke Sserunjogi eyawanguddwa ku bwammeeya bwa Kampala Central yakkirizza nti kituufu yawanguddwa, kyokka nti kyavudde mu kubba obululu.

    Abaawangudde                

"Obubbi bwayitiridde kuba aba NRM obwedda babawa obululu obusukka mu kamu ku buli muntu. Waliwo ebifo bye baatugaanye okutuukamu nga Summit View ne Nakasero. Wadde twekubidde enduulu ku poliisi naye tebaatuyambye." bwe yagambye.

Kyokka wadde byonna byabaddewo, yagambye nti, tagenda kuwaaba kuba kkooti tasuubirawo bwenkanya kuba ebitongole bya Gavumenti omuli n'akakiiko k'ebyokulonda byalemeddwa okumuyamba nga yeekubidde enduulu.

Kyokka yagambye nti, Hamdan Ssemugooma Kigozi owa NUP bw'anaasalawo okugenda mu kkooti n'awaaba, Sserunjogi ajja kumuyambako okuwa obujulizi kuba yabukuhhaanyizza.

Ssemugooma yeewuunyizza kye yayise obubbi n'agamba nti wadde nga yakubidde waggulu, kyokka ebyalangiriddwa ate biraga yameggeddwa. Yasuubizza nga bw'agenda okusooka okwebuuza ku bakulembeze b'ekibiina bamuyambeko okusalawo ky'azzaako.

Ebyalangiriddwa akakiiko k'ebyokulonda byalaze nti, Salim Uhuru owa NRM yawangulidde ku bululu 13,114. Ssemugooma yafunye 10,654 ate Sserunjogi owa DP n'afuna 5,318 kw'ossa Patrick Mugisha eyafunye obululu 2,095.

Uhuru yasabye banne bakkirize ebyavudde mu kulonda kuba yabawangudde mu mazima. Obuwanguzi yabutadde ku bukozi bwe ng'omuntu era nti ayambye abantu awatali kwawula mu ndowooza za bibiina oba eddiini era n'asobola n'okugatta aba NRM mu Kampala Central ne bamuwagira.

Uhuru yagambye nti, yabadde ne ttiimu ekuuma akalulu era yafubye okukakasa nti obululu bwe tebucankalanyizibwa. Uhuru ye Pulezidenti w'ekibiina ekigatta abazannyi b'ebikonde by'ensimbi mu ggwanga era agamba nakyo kyamuyambyeko okuwangula.

Uhuru ye wa NRM yekka eyawangudde obwammeeya mu Kampala era ebifo ebirala ebina byawanguddwa ba NUP.

Ali Kasirye Nganda Mulyanyama (NUP) yazzeemu okuwangula obwammeeya bwa Makindye nga yafunye obululu 56,743 era nga ye yasinze okufuna obululu obungi mu Kampala. Yaddiriddwa Bob Muhumuza owa NRM eyafunye 13,105. Moses Kalungi Kirumira DP, yafunye obululu 4,393, David Sabuka owa FDC yafunye 1,332 ate owa JEEMA Ali Zikusooka n'afuna 1,420.

Lubaga yawanguddwa Zacchy Mberaze Mawula (NUP) eyawangudde n'obululu 37,652 ate Joyce Nabbosa Ssebugwawo abadde mmeeya w'e Lubaga okumala emyaka 10 n'afuna obululu 25,718. Nakawa yatwaliddwa Paul Mugambe (NUP) ate Kawempe n'ewangulwa Emmanuel Sserunjogi (NUP) abadde mmeeya w'e Kawempe baamwongedde ekisanja ekirala ng'afunye obululu 44,130 ate Juma Sekyanzi owa NRM eyamuddiridde n'afuna obululu 8,043.

Mu Wakiso, NRM teyawangudde kifo kyonna era ku bifo ebina, NUP yawanguddeko bisatu ate ekya Mmeeya w'e Ntebe ne kitwalibwa atalina kibiina.

ABAAWANGUDDWA E MBALE BAGENDA MU KKOOTI
Mu City y'e Mbale, Joyce Kidulu Matuka atalina kibiina eyafunye obululu 3,902 ne Fred Kuranga naye talina kibiina eyafunye 3,647 baagambye nti bagenda mu kkooti bawawaabire Muhamood Masaba Mutenyo owa NRM eyawangudde ekya Mmeeya wa Industrial City Division ku bululu 8,163. Mu lwokaano olwo, Moses Kisolo atalina kibiina yakwatiddwa ku bigambibwa nti, yakubye Masaba ebikonde ku Mt. Elgon Hotel.

Mu Northern City Division, George Mwanika owa NRM, yawangudde n'obululu 7,148. Ekifo kino, kibaddemu Sezi Mafaabi owa FDC eyafunye obululu 4,127.
Abalala kwabaddeko Zubair Galiwango atalina kibiina eyafunye obululu 5,066.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...