TOP
  • Home
  • News
  • Paasita Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta.

Paasita Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta.

Added 27th January 2021

Paasita Mondo ne bakanyama.

Paasita Mondo ne bakanyama.

PAASITA Mondo adduse mu ggwanga agamba waliwo abagaala okumutta.

Mikwano gya Paasita Mondo nga bakulembeddwaamu Ssabavuulu Balam Barugahara batandise omuyigo okuzuula gy'ali, oluvannyuma lw'ennaku nnya ng'essimu ze teziriiko.

Balam agamba abadde anoonya Mondo ng'alina empapula z'alina okumuwa (proposal) okuzitwala ewa pulezidenti Museveni azitunulemu okulaba oba akkiriza okusaba kwabwe kwe bakola gye buvuddeko mu nsinsinkano gye yalimu n'Abasumba ba kkanisa z'Abalokole bamale bamusabe okubayamba mu mulimu gw'okukunga n'okuyamba abavubuka abali mu kkanisa z'Abalokole okwekulaakulaanya.

"Mmaze ennaku nga nkuba essimu ze teziyitamu ate nga ndaba obudde buweddeyo kwe kwesitula ntandike okumunoonya. Natuuseeko awaka nga taliiyo ne bang'amba nti tebamanyi gy'ali era nabo nga bamaze ennaku nga tebamulaba.

Nayongedde okunoonyereza oluvannyuma ne nkizuula  nga pasita Mondo ali South Africa. Nafunye omukisa okwogerako naye kyokka ono yantegezezza nti yasazeewo okudduka mu ggwanga olw'abantu abamutiisatiisa okumutta n'ensonga zeetooloolera ku misango  egyamuggulwako wamu n'Omusumba Siraje Ssemanda owa Revival Church e Bombo.

Siraje mu kiseera kino ali mu kkolera e Luzira ku bigambibwa nti beekoobaana ne bafeera basumba ne bannanyini masomero ssente ezisoba mu buwumbi 4 nga babasuubiza ssente z'okubagaggawaza, okuyamba abaana okusoma n'okubatwala ebweru w'eggwanga.

Balam agamba Mondo yamutegeeza nga bwe waliwo abasajja b'emmundu basatu abaamusanga e Lubowa ne bamulalika okumutta.

Bano baamuwadde obukwakkulizo okuli okukola sitatimenti ku polliisi ng'alumiriza Lt. Gen. Charles Angina okubeera mu mivuyo gino era nti lumu bamuwaako ssente okujja okusomesa abantu be baali bakung'anyiza bw'agaana okukikola bajja kumutta.

Agamba nti wadde Pasita Mondo yatidde nnyo yagaanyi eky'okuteeka Gen. Angina mu mivuyo gino gy'atalimu era olw'okutaasa obulamu bwe ku kwe kusalawo okudduka ave mu ggwanga era mu kiseera kino ali South Africa.

Bino we bibeereddewo nga Mondo asuubirwa ekiseera kyonna okweyanjula mu kkooti ku misango egyamuggulwako era omulundi ogwasembayo teyalabikako, bannamateeka be bategezza kkooti nti mulwadde wa COVID 19.

Lt. Col. Edith Nakalema akulira akakiiko akaateekebwawo Pulezidenti Museveni okulwanyisa obuli bw'enguzi omwaka oguwedde kaakwata Omusumba Siraje Ssemanda ne Maggie Kayima (Nabbi Omukazi) abakyali mu kkomera.

Ate abalala okuli; omuyimbi era omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala, Catherine Kusasira, omuwabuzi wa pulezidenti ku nsonga za Kampala ne Dr. Hilary Musoke Kisanja, Pasita Mugisha Mondo ne Robert Rwakandere omujaasi akola mu ofiisi ya Pulezidenti baayimbulwa ku kakalu ka poliisi ng'okunoonyereza mu bufere buno bwe kugenda mu maaso.

Kyokka Balam agamba mu kwogera ne Mondo amuwadde amagezi nti bw'aba nga ddala yeekoobaana mu bufere buno akomewo yeetonde ajja kusonyiyibwa ate bw'aba nga ddala akakasa nti emivuyo gino teyagirimu akomewo ensonga azitwale ewa pulezidenti bajja kumuwa obukuumi mu kifo ky'okudduka mu ggwanga.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh ng'annyonnyola okutalaka mu Busiraamu.

▶️ TAASA AMAKAGO: OKUTALA...

TAASA AMAKAGO: OKUTALAKA MU BUSIRAAMU KYE KI?

Lumbuye Nsubuga mmeeya wa Makindye Ssaabagabo (ku kkono), minisita Magyezi ne  Mbabazi RDC wa Wakiso nga balaga sitampu z’ebyalo ezaatongozeddwa.

▶️ Gavumenti etongozza si...

GAVUMENTI entongozza sitampu z'ebyalo, minisita wa Gavumenti ezeebitundu Raphael Magyezi n'alabula abakulembeze...

Owa LDU, Emmanuel Ogema (ku kkono), David Owiri (amuddiridde), Vincent Olenge ne Jakis Okot (ku ddyo) abaakwatiddwa.

▶️ Owa LDU bamukwatidde mu...

OMUJAASI wa LDU bamukwatidde mu kibinja ky'abakukusa amasanga n'ebitundu by'ensolo z'omu nsiko eby'omuwendo. ...

Papira (ku kkono), Acieng, Kobugabe ne Isaac Mukasa, akulira engule za Fortebet Real Star Monthly Awards. Mu katono ye Komakech.

Owa Hippos ajja kusinga Ony...

FLORENCE Acieng, nnyina wa ggoolokipa wa Hippos (ttiimu y'eggwanga ey'abali wansi w'emyaka 20), agambye nti mutabani...

Minisita Kitutu

Gavumenti yaakuwa abantu 30...

GAVUMENTI eyanjudde enteekateeka okuddamu okugabira amaka 300,000 mu byalo amasannyalaze okutandika ku Mmande ya...