TOP
  • Home
  • News
  • Omusajja alinnye omuti gw'amasannyalaze gamutte

Omusajja alinnye omuti gw'amasannyalaze gamutte

Added 27th January 2021

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

Ronald Kasirye ng'ali waggulu ku muti gw'amasannyalaze.

ABATUUZE b'e Ntinda mu ministers Village bakedde mu ntiisa oluvannyuma lw'omuvubuka ategerekeseeko nga Ronald Kasirye ate abalala nga bagamba ye Kilonza Mandela okwekyawa n'awalampa ebyuma ebitwala amasannyalaze ag'amaanyi agafuluma eggwanga ng'ayagala gamutte. 

Embeera eno ereseewo akasattiro mu kitundu ,ng'abantu bakungaanye okulaba ogubadde.

Kenneth Kanyike,  ssentebe w'ekitundu kino ekya Minister's Village 9  ekikolwa kino kibeewuunyisizza era ne bakubira poliisi essimu era kibatwalidde essaawa ezisoba mu musanvu okujja okutaasa omusajja ono era nabo basitukiddemu n'abasirikale abazikiriza omuliro okuva e Kampala n'ezimu ku mmotoka zaabwe.

Beegayiridde  Kasirye (Mandela) okuvaayo gy'abadde waggulu  nga tavaayo. 

Balabye emmotoka ze baleese tezisobola kumuggyayo olwo kwekutumya endala okuva e Ntebe n'abasirikale bayambeko.

Owa Poliisi Ng'akuba Essimu. Emabega Ye Mmotoka Ezikiza Omuliro.

Kasirye Ng'ali Waggulu Ku Muti Gw'amasannyalaze.

Oluvannyuma lwa kaseera emmotoka y'abazikiriza omuliro ey'amaanyi  okuva e Ntebe etuuse   olwo enduulu ne yeeyongera okuva mu batuuze .

Abasirikale babadde batandise okuwanika ebyuma  waggulu  Kasirye (Mandela) abadde yalemeddeyo obwedda n'atandika okuvaayo mu masannyalaze waggulu mpola mpola  olwo batuuze ne baleekaana nga bwe bamuwaana.

Ono olutuuse wansi asanze abasirikale ababadde  bamulinze edda era bamukute ku mukono ne bamutwala mu ambyulensi ya poliisi nnamba UP 7582  ebadde emulindiridde wakati mu batuuze okuwaga.

Ye Kenneth Kanyike,  ssentebe w'ekitundu kino ekya Minister's Village 9  ekikolwa kino kibeewuunyisizza era ne bakubira poliisi essimu era kibatwalidde essaawa ezisoba mu musanvu.





  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekabembe ng’alaga ezimu ku keeki eziwedde okuyooyootebwa.

Ssekabembe eyatandika ne 25...

SINKANA Brenda Sekabembe alina emyaka 42 nga ye mutandisi wa kkampuni ekola keeki eya Bake for Me esangibwa mu...

Poliisi ng’ewalabanya omu ku baaziikudde omulambo gwa Ssali.

▶️ Poliisi egugumbudde abaa...

AMASASI ganyoose mu kuziika nga poliisi egumbulula ebbiina ly'abavubuka abeeridde omuguju ne baziikula omulambo...

Abamu ku basuubuzi abaalumbye ofi isi ya Kushaba.

▶️ Omukazi eyawambye akatal...

MINISITA wa Kampala alagidde omukyala Suzan Kushaba okwamuka mu bwangu ofi isi za KCCA ze yawambye ne yeerangirira...

Abakungu okuva mu kitongole ky’ebyobulamu oluvannyuma lw’eddagala erigema COVID 19 okutuuka mu ggwanga. Baabadde ku kisaawe e Ntebe.

▶️ Okugema Corona kutandika...

BANNAYUGANDA babagumizza ku ddagala erigema corona eryatuuse mu ggwanga nga bwe litalina buzibu eri obulamu bw'abantu....

Omugenzi Kalulu n’omu ku bakazi be.

Owa capati asse gw'asanze a...

OMUSAJJA ow'abakazi ababiri bamufumise ekiso n'afa oluvannyuma lw'okukwatibwa lubona ne muk'omusajja gw'agambibwa...