TOP
  • Home
  • News
  • Bawambye omuwala w'essomero ne bamutta

Bawambye omuwala w'essomero ne bamutta

Added 28th January 2021

Nampanga eyattiddwa.

Nampanga eyattiddwa.

Entiisa ebuutikidde abatuuze b'oku kyalo Kirulumba mu muluka gwe Kirulumba mu Kiboga Town Council bwe basanze omuwala w'essomero ng'attiddwa mu bukambwe.

Catherine Nampanga 19, abadde asoma ebyamawulire ku MARKLAND Institute yattiddwa ku Mmande akawungeezi.

Baamusibye akandooya ne basima akannya mu lusuku lw'essomero lya Elly Kindergarten ne bamuziikamu n'ensawo ye. Kigambibwa nti baamuwambye okuva awaka ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde ne babakubira essimu okubawa ssente okumuzza.

Okusinziira ku Scovia Nabakka, ssenga w'omugenzi, Nampanga yava awaka ku Lwokutaano n'agenda e Kiboga mu tawuni okunoonya omulimu gwe yawulirako
nga balanga. Naye okuva kw'olwo tebaddamu kumulaba okutuusa lwe baazudde omulambo.

Yagasseeko nti, "Nampanga lwe yava awaka ku Lwokutaano, nagenda e Kiboga kyokka waliwo essimu eyankubirwa ng'entegeeza bwe nnina okusasula obukadde butaano okumpa muwala wange, naye ne tulemererwa kubanga ssente zaali nnyingi.

Kyokka kyatwewuunyisizza okuwulira nti Nampanga yasangiddwa attiddwa," Nabakka bwe yategeezezza.

Beth Nakimbugwe nnannyini lusuku omulambo mwe gwasangiddwa yagambye nti yagenze okuyunja emmere n'asanga nga waliwo we baasimye nga wateereddwaawo
n'endagala.

Agamba nti bwe yagenze yeetegereze endagala ze ezaatemeddwa n'asanga nga
muntu gwe baazibisseeko, kwe kuddukira eri abatuuze ne polliisi.

Michael Kimuli mwannyina wa Nampanga agamba nti ye abeera Kiboga mu tawuni era bwe yawulira nga balanga emirimu ku kizindaalo ekiyitibwa ‘Mambo bado' kwe kubatuukirira n'awaayo essimu ya Nampanga eyali akikolako n'agikubako n'amutegeeza nga bw'ayagala omukozi ng'alina okwokya mu densite ye n'okufuna
ebbaluwa ya ssentebe w'ekyalo amuwe omulimu.

Agamba nti yaddayo awaka e Kasanja okuleeta ebbaluwa ya ssentebe n'asiibula abaawaka, teyaddamu kulabika George William Ssengendo nga ye taata wa Nampanga agamba nti ku Lwokutaano, Nampanga yamutegeeza nga bw'afunye omulimu era n'amusiibula bulungi kyokka ate okuwulira nga yafudde.

Omulambo gwatwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro ly'e Kiboga okugwekebejja.

Godfrey Ninsiima omuduumizi wa poliisi mu Kiboga yavumiridde ekikolwa kino n'ategeeza nti okunoonyereza kugenda mu maaso okuzuula eyakoze ettemu lino.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ndagga ng'ayogera eri bannamawulire.

'Amasomero agasomesa ebibii...

Akulira ebyenjigiriza mu disitulikiti y'e Wakiso, Daniel Ndagga, ategeezezza ng'amasomero agasinga bwe gaziimudde...

Ente ali mu kifaananyi ne banne gye baakwatiddwa nayo.

Babakutte lubona n'ente enzibe

Poliisi y'e Sseeta Nazigo mu disitulikiti y'e Mukono ekutte abasajja babiri abateeberezebwa okuba ababbi b'ente...

Minisita Kuteesa

Minisita Sam Kuteesa ayanju...

MINISITA w'enkolagana y'amawanga g'ebweru, Sam Kahamba Kuteesa ayanjudde lipooti ku bwegugungo obwaliwo nga November...

Myeyu asibiddwa emyaka ena.

Eyakwatibwa n'ebyambalo by'...

SSENTEBE wa kkooti y'amagye e Makindye, Lt. Gen. Andrew Gutti asibye omusajja emyaka ena mu kkomera e Kitalya lwa...

Bakiraaka ba kkooti nga bambadde yunifoomu.

Baleese yunifoomu z'abakozi...

Kaweefube w'okulwanyisa obuli bw'enguzi, essiga eddamuzi limukwasizza maanyi bwe litongoza  yunifoomu  egenda okwambalibwa...