
Pulezidenti Museveni ng’alaga eddagala lye yatongozza.
PULEZIDENTI Museveni atongozza okugezesa eddagala erijjanjaba obulwadde bwa corona n'asoomooza Bannayuganda okukomya okulowooza nti Abazungu be balina okubawa buli kimu olubeerera.
Eddagala eriri mu kugezesebwa erya ‘UBV-OIN eryakoleddwa mu birungo by'obutonde lyayisiddwa abakugu ab'ekitongole ekya Natural Chemotherapeutic Research Insititute.
Dr. Grace Nambatya, akulira ekitongole ekyo mu minisitule y'ebyobulamu yagambye nti eddagala lino lyandibadde lyagezesebwa dda kyokka ab'ekitongole kya Uganda National Council for Science and Technology, ekivunaanyizbwa ku kuvumbula mu ssaayansi, babadde bakyalina emisoso gye baliyisaamu okulikakasa.
Bwe yabadde atongoza eddagala lino, Pulezidenti Museveni yagambye nti kimwewuunyisa okulaba Abaddugavu nga tebafiirayo ddala kuyiiya byabwe ne balindanga Abazungu okubawa bye bamaze okukola.
"Embeera y'okulowooza nti tulina kuweebwanga siyinza kugikkiriza. Eno y'ensonga lwaki abamu tetwali bajaasi, kyokka bwe twalaba engeri abajaasi gye baali balemeddwa okuyisa obulungi abantu, twasalawo okuyingira obujaasi," bwe yagambye.
Museveni eyabadde ayogeza obukambwe yagambye nti kimwewuunyisa okulaba ng'abajaasi b'ekibiina ky'amawanga amagatte babadde mu Congo okumala emyaka 60 okuva lwe batta Lumumba.
Uganda yagyogeddeko ng'ensi erowooleza mu byayo era mu kiseera kino esobola bulungi okwerwanako ng'ebadde erumbiddwa abalabe okuva ebweru ne munda mu ggwanga.
Pulezidenti yeewuunyizza nti waliwo Abazungu abaava ewaabwe ne bagenda gy'ali okumugamba ateese n'abooludda oluvuganya.
"Bwe mba njagala okuteesa n'abooludda oluvuganya tekinneetaagisa kuhhamba kuba mmanyi gye bali era nsobola okugendayo," Museveni bwe yagambye.
Yeemulugunyizza ne ku bikolwa by'okulya enguzi n'akasoobo mu bitongole bya Gavumenti n'agamba nti biremesezza abayiiya bangi okugenda mu maaso.
Mu kisanja ekijja, Pulezidenti yagambye nti agenda kulinnyisa emisaala gya bannassaayansi kuba bazze bataasa eggwanga ku bizibu ng'ekyenzige ezaalumba ebitundu bya Karamoja.
Dr. Bruce Kirenga akulira Makerere University Lung Institute yagambye nti eddagala lino eryekinnansi ligenda kuyisibwa mu mitendera egiwerako okukakasa nga lisobola okuwonya obulwadde bwa corona.
Ligenda kusooka kugezesebwa ku balwadde abali mu ddwaaliro e Mulago era bwe kinaazuulibwa nga likola bulungi, oluvannyuma lijja kuweerezebwa mu malwaliro amalala.
Dr. Monica Musenero omuwi w'amagezi owa Pulezidenti ku nsonga z'ebyobulamu yagambye nti eddagala erigenda okugezesebwa lyakoleddwa mu bikolo ebyaggyiddwa mu Uganda. Kuno abakugu mu bya ssaayansi kwe beegasse okulirongoosa okutuuka mu mbeera gye lirimu.
Okukola eddagala lino kwatandika mu November w'omwaka oguwedde abajjanjabisa eddagala ly'ekinnansi bwe baakola eddagala erisussa ebika 300, kyokka Gavumenti n'erondako ebika 20 byokka okugezesa ku kujjanjaba corona.
Eddagala lye baasooka okukozesa ku balwadde ba corona lyakola bulungi. Mu kiseera kino kye baliko baagala kulaba nga liyisibwa mu mitendera gyonna likakasibwe Gavumenti nga terinnatongozebwa ng'eddagala eriwonya corona.
Mu kiseera kino abantu abawera 31,188 be baakakwatibwa corona mu Uganda, 318 bafudde ate ng'abajanjabibwa bali 433.