TOP
  • Home
  • News
  • Uncle Money asibiddwa emyaka 4 lwa kutta muntu

Uncle Money asibiddwa emyaka 4 lwa kutta muntu

Added 28th January 2021

Uncle money Jackson Ssewanyana ku kkono ne Benson Ssenyonga nga bali mu kaguli

Uncle money Jackson Ssewanyana ku kkono ne Benson Ssenyonga nga bali mu kaguli

Jackson Ssewanyana  amanyiddwa nga Uncle Money omuwagizi lukulwe ow'omupiira naddala Uganda Cranes ne ttiimu ya Express FC kkooti emuwadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 4 lwa kutta Akir Siraje Tumusiime mu butali bugenderevu.

Ettemu lino lyaliwo nga August 16, 2019 e Kasubi bwe baakwata Tumusiime ne bamusiba akandooya ne bamutwala mu musiri gwa lumonde ne bamukuba emiggo nga kwe bagasse n'okumusamba.

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Miriam Okello agambye nti Uncle Money nga omukulembeze w'ekyalo n'owebyokwerinda Benson Ssenyonga bwe bazza omusango baalina obuvunaanyizibwa bw'okukuuma amateeka n'okubeera ekyokulabirako ekirungi naye baasalawo kutwalira mateeka mu ngalo.

Omulamuzi agasseeko nti tewali muntu alina buyinza kuggyawo bulamu bwa munne n'abasaba bakozese ekibonerezo ky'emyaka ena okwefumintiriza n'okukyusa ebikolwa byabwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Paapa Francis nga yaakatuuka  mu Iraq ku Lwokutaano.

Engeri Paapa gye yeesitudde...

PAAPA Francis ‘Baba al Vatican' (nga bwe bamuyita mu Iraq) ku bugenyi obwebyafaayo mu Iraq yasisinkanye n'omukulembeze...

Catherine Namaato baamusala Catherine okutu ng’ava okukola..

Abakuba obutayimbwa basitud...

BANNAKYOTERA beeraliikirivu olw'akabinja k'abanyazi akateega abantu nga bava okukola ne babakuba obutayimbwa ku...

Ssebwana Kiberu (ku ddyo) ng’akulembeddemu Bannabusiro okukola bulungi bwansi e Kajjansi.

Ssebwana akuutidde abavubuk...

OMWAMI wa Ssaabasajja atwala Essaza ly'e Busiro, Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza, akuutidde Abavubuka abaalondeddwa...

Abamu ku bavubuka abagambibwa okubbira ku bodaboda abakwatiddwa.

▶️ Akabinja k'aba bodabo...

AKABINJA k'ababodaboda ababbi katadde abasuubuzi mu Kampala ku bunkenke. Babbye ssente obuwumbi bubiri mu wiiki...

Omwami w’eggombolola y’e Ngogwe, Livingstone Kisekka (ali mu kyambalo okuli engabo) ng’alaga Omulangira Wasajja (mu ssuuti wakati)amakula ge baaleetedde Kabaka.

Wasajja ajjukiza Gavumenti ...

OMULANGIRA David Kintu Wasajja agambye nti Obwakabaka bwa Buganda bwennyamivu olwa gavumenti okuba nti ekyagaanye...