TOP
  • Home
  • News
  • Aba NUP baabuse tebakkaanyizza ku kiddako

Aba NUP baabuse tebakkaanyizza ku kiddako

Added 28th January 2021

Kyagulanyi (ku kkono) n’abamu ku babaka ba NUP.

Kyagulanyi (ku kkono) n’abamu ku babaka ba NUP.

ABABAKA ba palamenti abalonde mu kibiina kya NUP akafubo ke baabaddemu ne mukama waabwe, Robert Kyagulanyi ‘Bobi Wine', baayabuse tebasazeewo ku kyankomeredde ku kiki ekiddako.

Abamu baabadde baagala bagende mu kkooti bawakanye obuwanguzi bwa Yoweri Kaguta Museveni kyokka abalala nga bakiwakanya bagamba nti amaanyi ga bali mu bantu baddeyo babannyonnyole basalirewo wamu ku kiki kye bazzaako.

Ababaka bano baasisinkanye ne Kyagulanyi ku Lwokubiri mu makaage e Magere omulundi ogwasoose okuva lwe baabalonda ne bateesa ku nsonga nnyingi naye ng'essira basinze ku kuteesa ku kye bazzaako kye bayita okulwanirira obuwanguzi bwa Kyagulanyi.

Omu ku baabadde mu kafubo kano, Abdallah Kiwanuka ‘Mulimamayuuni' eyawangudde minisita Ronald Kibuule mu Mukono North yategeezezza Bukedde nti eky'okugenda mu kkooti baakikkaanyizzaako era bannamateeka b'ekibiina bali mu kuttaanya nteekateeka za kutegeka bujulizi.

Abaawagidde eky'okugenda mu kkooti bagamba nti obujulizi bwonna babulina obusobola okulaga ekibbabululu ekyaliwo era mukama waabwe Kyagulanyi azze akyogera nti akimanyi Abalamuzi tebayinza kusazaamu Museveni eyabalonda kyokka kijja kubayambako okumwanika n'okwanika ekitongole ekiramuzi ku ngeri gye kitambuzaamu emirimu.

Wabula abagenda mu kkooti nga beetegeka, abatakkaanya na kirowoozo ekyo nabo baasazeewo okudda mu bantu babannyonnyole ku kigenda mu maaso n'okutema empenda ku ngeri gye basobola okukolera awamu mu makubo agakkirizibwa amateeka.

Kyagulanyi alumiriza nti obululu ssentebe w'akakiiko k'ebyokulonda, Omulamuzi Simon Byabakama bwe yalangiridde nga January 16, mwe yalangiridde pulezidenti Museveni nti yawangudde n'obululu 5,851, 037 obukola ebitundu 58.64 ku 100 ate Kyagulanyi n'afuna 3,475,298 bye bitundu 34.83 ku 100, bufu.

Kyagulanyi obululu buno abuwakanya agamba nti ye yali awangudde ne bakyusa obuwanguzi bwe era wa kugenda mu maaso ng'ayita mu makubo agakkirizibwa mu mateeka okulwanirira obuwanguzi bwe.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...