TOP
  • Home
  • News
  • Balooya ba Nsereko bakubye ebituli mu bujulizi bwa Nyanzi

Balooya ba Nsereko bakubye ebituli mu bujulizi bwa Nyanzi

Added 28th January 2021

Chairman Nyanzi (ku kkono) ne looya we Anthony Wameri (ku ddyo).

Chairman Nyanzi (ku kkono) ne looya we Anthony Wameri (ku ddyo).

CHAIRMAN Nyanzi owa NUP yeesomye okusuuza Muhammad Nsereko ekifo ky'omubaka wa Kampala Central mu palamenti. Nyanzi ayanjulidde kkooti obujulizi obulaga ebifo 53 by'agamba nti Nsereko we yabbidde obululu okumuwangula.

Nyanzi muganda wa Robert Kyagulanyi, alumiriza nti Nsereko mu kubba obululu yayambibwako akakiiko k'ebyokulonda okujingirira emikono gya "bajenti" ba Nyanzi, okubatiisatiisa n'okubagoba awalonderwa. Bwe baamala okugobawo "bagenti" ba Nyanzi olwo ne bajjuza obululu bwe baagala okuyisaamu Nsereko era n'alangirirwa.

Mu kalulu k'okulonda ababaka ba Palamenti nga January 14, Nsereko yalangirirwa ng'awangudde n'obululu 16,988 ate Nyanzi yafuna 15,975. Yamuwangulira ku bululu 1,013.

Eggulo kkooti y'omulamuzi Esther Nansambu e Mengo yawulidde omusango gwa Nyanzi. Balooya ba Nyanzi okuli Anthony Wameri ne Benjamin Katana baawadde ebifo we bagamba awaali okubba obululu okuli Bakerville e Kololo, Kiyindi Mosque, Old Kampala SS, Mukwano Center, Kitawuluzi Hall (A-Z) Hajj Katende Home, National Thearter, Kiguli Mango Tree, Superior Complex, Summit View, Bus Park Nakivubo, Kibwa Zooni, Balikuddembe Primary School, Kitanmte Courts, KCC Primary Scholl Muh-Z ne Tlc Leisure Center.

Ebirala kuliko: Blue Room Zooni - Chairmans Place, Basajjabalaba Taxi Park (A-K), Basajjabalaba Taxi Park (L-Nam) , Nakasero (A-L) , Hoima Road Flats, All Saints B, York Village - East Kololo Primary School, Mackenzie -East Kololo Primary School, Kiyindi Mosque, All Saits A, Muti Bay Car Washing Bay, Baptist Church, Kakajo 1 Zone ne Seroma Park Yard.

Yayongeddeko Mukwano Center (N-Z), Seventh Day Adventist Church (A- Kh), Kiira Road Police Playground, Dafoliles Academy, NHCC Flats, Seventh Day Church (Nat-Z), Seventh Day Church (Ki-Naki), Kibwa Zone, Balikuddembe Primary School. Awalala Kasaato Zone (A-L) TLC Leisure Center (A-J), Park Yard (A-M), Central Zone, Community (A-L), TCL Leisure Center (A-J), Management Institute, Rutabaga Road LC Meeting, Rutabaga Road Printer , Muyembe Mawanda, Jambula (A-M), Two Way Primary School (A-M), KCC Primary School (A-Hug), Homisdallen Primary School (N-Z), Homisdallen (N-Z) , Kalina, Bat Valley Primary School, Park Yard (N-Z) ne ku Nalunkuuma road poliing station.

Nsereko (ku Ssimu) Ne Mmeeya Wa Kampala Central Sserunjogi (ku Kkono).

EBIFO EBIRALA
Nyanzi ne Nsereko baabaddewo mu kkooti. Nyanzi asaba kkooti eragire okuddamu okubala obululu ate bw'asinga alangirirwe era bamuddize ensimbi z'asasaanyizza ku musango.

Balooya ba Nsereko okuli Sauda Nsereko( mwannyina wa Muhammad Nsereko) ne Medard Mukwaya baakubye ebituli mu bujulizi bwa Nyanzi ne bagamba nti ebifo ebisinga gy'ayagala okuddamu okubala obululu ate Nyanzi ye yawangulayo. Kino kitegeeza ntgi awakanya obuwanguzi bwe.

Mukwaya yayongeddeko nti obujulizi bwa Nyanzi ng'alumiriza nti bagenti be tebaateeka mukono ku mpapula kubanga baali babagobyewo, nakyo kyewuunyisa kubanga empapula ziraga nti nga bassaako emikono. Ate bwe giba gyajingirirwa kyetaagisa okuleeta abakugu ku nsonga eyo.

Ne bagattako nti tekisoboka kuba nga ‘bagenti' ba Nyanzi baagobwa mu bifo awabalirwa obululu ate ne baba nga bassa emikono ku mpapula okuwandiikibwa ebivudde mu kalulu (DR Forms). Kino kiraga nti Nyanzi tayogera mazima.

Ekirala Nyanzi wadde alumiriza bwe baamubba mu bifo 53, kyokka obujulizi yaleese bwa bifo 28. Aba Nsereko ne bagamba nti Nyanzi yandibaako by'akweka obutamalaayo bifo by'alumiriza gye baamubbira.

Kwe kusaba kkooti ereme kwesigama ku byogerwa Nyanzi wabula yeezuulire ekituufu. Kwe kusaba omusango gugobwe.

OMUSANGO GUSALWA LEERO
Okulonda we kwabeereddewo nga waliwo obutakkaanya mu booludda oluvuganya ku bifo NUP mwe yasimbye abantu ate ng'ebibiina ebirala nga FDC birinawo ab'amaanyi.

Ebifo bino kuliko ekya Loodimmeeya ekirimu Erias Lukwago era eyazzeemu okukiwangula. NUP yamusimbako Nabilah Sempala.

Ate Nsereko atalina kibiina, NUP yamusimbako Nyanzi wadde ng'abooludda oluvuganya baali baagala bonna bawagire Nsereko kubanga bali naye mu "struggle".
Kyokka kino aba NUP baakiwakanya olw'ebigambibwa nti Nsereko ne Lukwago tebalaga buwagizi eri Kyagulanyi.

Kampala Central kimu ku bitundu ebizibu mu kalulu. Okugeza Salim Uhuru (NRM) yawangudde ekya Mmeeya wa Kampala Central nga kye kyokka ekyawanguddwa NRM mu Kampala.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...