TOP
  • Home
  • News
  • Bakansala abaalondeddwa bajja kwanguyizza bameeya emirimu

Bakansala abaalondeddwa bajja kwanguyizza bameeya emirimu

Added 28th January 2021

Mulyanyama ( mu kkooti) ng’ali n’abamu ku bakansala abaalondeddwa.

Mulyanyama ( mu kkooti) ng’ali n’abamu ku bakansala abaalondeddwa.

Bakansala abaalondeddwa okukiika ku munisipaali za Kampala balabise okuwa bameeya obwangu mu kukulembera olw'okuba abasinga obungi bafaanaganya nabo ekibiina.

Ng'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bwe kyafunye bameeya abasinga okuli; Ali Kasirye Mulyanyama e Makindye, Paul Mugambe ow'e Nakawa, Zacchy Mberaze e Lubaga ne Emmanuel Sserunjogi e Kawempe era n'ababaka baabasindikidde ba NUP.

Salim Uhuru Nsubuga owa Kampala Central naye baasinze kumusindikira bakansala ba
kibiina kye ekya NRM.

Mu kisanja ekiwedde Ronald Balimwezo Nsubuga meeya we Nakawa afunye nnyo okusoomozebwa kubanga bakansala bangi baali ba NRM ate nga ye ava mu kibiina kya SDP.

Lumu bakansala baaleetako ekiteeso nga baagala okumuggyamu obwesige, kyokka ne kigwa butaka ekintu abamu kye baataputa nti kyali kiva ku njawukana mu ndowooza z'ebyobufuzi.

Joyce Nabbosa Ssebuggwawo owa FDC naye yalina kansala w'ekibiina kye omu yekka mu kkanso (Yunus Ntale). Yafuna obuzibu ku ntandikwa bwe yali amulonda ku bumyuka bwa meeya nga bakansala abasinga bagamba alonde mu kibiina ekirala.

Yusuf Katabira Wa Sserwadda Ne Church Zooni E Kabowa.

Mu Kampala Central, ku lukiiko lw'abantu 42, NUP yafunyeeko 16 , DP-1, abatalina kibiina 5 ate NRM yafunye 20.

Omuwendo gw'aba NRM omungi guwadde omukisa Salim Uhuru eyawangudde okukola okuba ng'alina obuwagizi bwabakansala abasinga obungi.

Bwanaatuuka mu kulonda ebifo ng'omumyuka we, n'olukiiko olufuzi alina abantu bangi ab'okulondako era ne kkanso esuubirwa okubakakasa awatali kusika muguwa.

RM emaze ebbanga nga y'esinza bakansala mu lukiiko lwa Kampala Central era abooludda oluvuganya, ku lukiiko olukadde oluliwo wansi w'obukulembeze
bwa Charles Sserunjogi Musoke, NRM y'esinzaako bakansala nga bali 32 ate DP erina 10.

Sylvia Nakidde   Kabowa

E Makindye; olukiiko lutuulako bakansala 76 nga NUP yayisizzaako 62, NRM n'efuna 8, DP 3 ate ebifo ebisatu ebisigadde bakyabigatta.

Olukiiko olukadde lubaddeklo bakansala 47 nga NRM erinako 23, DP-17, FDC-1, JEEMA 1 n'abatalina bibiina bataano.

Mulyanyama asuubirwa okufuna obwangu mu nzirukanya y'emirimu kuba yafunye bakansala abasinga bwe bafaanaganya endowooza okusinga mu kkanso enkadde aba NRM gye babadde abangi.

Kinajjukirwa nti mu kiseera ky'okulonda omumyuka wa meeya, baabirwaniramu nga
baagala Mulyanyama alonde omu ku bo kuba be basinga obungi. Beekuba obutebe n'ebikonde, kyokka gye byagwera nga John- Bosco Lusagala owa DP ekifo
akitutte.

E Lubaga; Kanso y'e Lubaga eriwo kati ebadde ne bakansala 46; ku bano 13 babadde ba kibiina kya FDC bw'ogattako Meeya Joyce Nabbosa Sebuggwawo naye owa
FDC ne babeera 14, aba NRM bali 19, aba DP 7 n'abatalina bibiina babadde 7.

Mu kanso empya eyalondeddwa, egenda kubeera ne bakansala 84; ekibiina kya NUP kirinako 50, kitegeeza beebalina omuwendo omunene okwo ogatteko ne Meeya Zacchy Mawula Mberaze naye owa NUP. Kino kitegeeza nti Mberaze ajja kufuna obwangu mu
mirimu gye.

Nnaalongo Harriet Nanyonjo    Najjanjankumbi Ll

E Nakawa; Olukiiko lwa kanso olukulemberwa Ronald Balimwezo lulina bakansala 42. Aba NRM 25, FDC-5, abatalina bibiina 9, DP-2. Olukiiko olwalondeddwa lulina aba NRM 25, NUP erina 45, FDC-3, DP yafunye 1. Kyokka waliwo ebifo ebyabadde tebinnaba kulangirirwa.

Balimwezo emirundi mingi abadde aleeta ebiteeso mu kkanso, kyokka bakansala nga
babisimbira ekkuuli.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omuzannyi wa Villa (ku kkono) n'owa Busoga United nga bagoba omupiira mu gwa liigi ogusembyeyo. Baagwa maliri, 1-1.

VILLA ETUNUZZA OMUDUMU MU UPDF

Leero (Lwamukaaga) mu Liigi (10:00); SC Villa - UPDF, Bombo Onduparaka - Vipers, Arua KCCA - Kitara, Lugogo Bright...

Cheptegei ng'ajaganya.

Likodi za Cheptegei zimweyi...

ENJOGERA egamba nti ‘Katonda nga yaakuwadde, n'ennume ezaala' etuukira bulungi ku muddusi Joshua Cheptegei. Ye...

Ivana Ashaba (mu maaso), owa Hippos ng'alemesa owa Burkina Faso okutuuka ku mupiira.

Hippos eyiseemu kavvu

ENKAMBI ya ttiimu y’eggwanga ey’abatasussa myaka 20 (Hippos), yeeyongeddemu ebbugumu, FUFA bwe baawadde doola 80,000...

Ttakisi mu paaka enkadde.

'Bbeeyi y'entambula esusse'

ABABAKA ba palamenti bennyamivu olw’ebisale by’entambula ebyeyongera okulinnya buli lukya ekinyigiriza abasaabaze....

Fr. Kabagira ne Fr. Mubiru nga baganzika ekimuli ku ntaana ya Ssaabasumba Joseph Kiwanuka mu Eklezia e Lubaga.

Bajjukidde Ssaabasumba Kiwa...

ABAKKIRIZA bajjukidde Ssaabasumba Joseph Nakabaale Kiwanuka eyafa nga February 22, 1966 n’aziikibwa mu Eklezia...