TOP
  • Home
  • News
  • Ntagali bamutaddeko akakiiko ku by'omuwala

Ntagali bamutaddeko akakiiko ku by'omuwala

Added 30th January 2021

SSAABALABIRIZI eyawummula, Stanley Ntagali bamutaddeko akakiiko ku by'okuganza omukazi Judith Tukamuhabwa muk'omwawule Rev. Christopher Tugumehabwe ow'e Kabale.

Ebya Ntagali okuganza omukazi biyuuguumizza ekkanisa okuva Ssaabalabirizi Dr. Stephen Kazimba lwe yawandiika ebbaluwa nga January 13, 2021 ng'ayimiriza Ntagali obutaddayo kukola mulimu gwonna gwa kkanisa.

Kazimba n'ategeeza nti Ntagali yali akkirizza bwe yakemebwa ne yeegatta n'omukazi
oyo mu bwenzi.

                  Tukamuhabwa

Ntagali4

Ku Lwokuna, olukiiko lw'Abalabirizi lwatudde e Lweza olwakbiriziddwa Ssaabalabirizi Dr. Kazimba Mugalu. 

Eggulo, Ekkanisa yatuuzizza olukuηηaana lwa bannamawulire e Namirembe okwogera ku byakkiriziganyiziddwaako Abalabirizi.

Omuwandiisi w'Ekkanisa ya Uganda, Rev. Capt. William Ongeng yategeezezza nti Abalabirizi baataddewo akakiiko okwetegereza ensonga za Ntagali.



Bye kanaazuula n'okusemba bye bijja okusinziirwako okusalawo oba Ntagali ayongerwako ebibonerezo oba akkirizibwa okuddamu okuweereza mu kkanisa.

Akakiiko era kagenda kusabira n'okubudaabuda buli ludda olwa Ntagali ne muk'omwawule n'okulaba nti bonna abaakosebwa mu kikolwa kino batabagana wakati n'okuteekawo enkolagana empya.

Olukiiko lw'Abalabirizi lwalambise ebibonerezo ebyolekedde Ntagali okuli okuyimirizibwa ku buweereza ebbanga eritali ggere oba okwambulwa ebyambalo by'obuweereza. Akakiiko era kasobola okusemba okusonyiwa Ntagali.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wabaddewo vvaawompiteewo n...

WABADDEWO vvaawompiteewo ku kisaawe kya MTN Arena e Lugogo ng'abakungu ba FUFA balondesa abakulembeze b'omupiira...

Abamu ku bayizi be basabidde.

Abayizi ba S.6 babuuliriddw...

ABAYIZI ba S6 babuuliriddwa okutwala ebigezo eby'akamalirizo bye batandika enkya ng'ensonga kuba kati batandise...

Fr. Dominic Kagoye  ng'akwasa Kironde (afukamidde wansi ) pikipiki gye baamutonedde,nnyina (mu gomesi) n'abaana be.

Omusomesa eyaziba amaaso ki...

Eyali Omusomesa wa Siniya okubala ne 'Physic's eyaziba amaaso mu ngeri eyewuunyisa ng'ali mu kibiina asomesa n'akubwa...

Museveni n'owa Tanzania bat...

Abakulembeze b'amawanga okuli owa Uganda Yoweri Museveni ne Samia Suluhu Hassan owa Tanzania batadde omukono ku...

Abaami ba Kabaka abaweereddwa eggaali.

Kabaka awadde abaami b'amag...

Ssaabasajja Kabaka asiimye n'awa abaami be abamagombolola 29 agokola essaza lye Buddu entambula. Obuyambi...