
Navalny
AKULIRA oludda oluvuganya Gavumenti ya Vladimir Putin mu Russia asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi, balooya ba Gavumenti ne basaba asibwe emyaka esatu n'ekitundu.
Lwabadde lutalo lwa bigambo ng'abawolereza Alexei Navalny bayomba n'aba Gavumenti ne batuuka n'okusala emyaka gye baagala asibwe nga n'omulamuzi tannasalawo oba omusango gwe baamuwabira gumusinze.
Navalny eyakwatibwa omwezi oguwedde ku by'okusekeeterera Gavumenti ya Putin gy'agenda alangira obulyake, obusosoze, okutulugunya abantu n'obutabafaako, yaleeteddwa eggulo mu kkooti wakati mu kwerinda okw'amaanyi olw'abeekalakaasi abamaze ebbanga nga baagala ayimbulwe.
Abatunuulizi b'ebyobufuzi mu Russia ne Bulaaya baategeezezza nti Navalny bw'asibwa emyaka egyo, aligenda okudda ng'okuwakanya Putin kwaggwawo dda.
Balowooza bwe batyo kubanga aboogera ku Putin bangi baweereddwa obutwa, nga Navalny bwe yaweebwa mu August wa 2020 n'addusibwa e Girimaani gye yawonera.
Ekirala ekibatiisa nti Navalny y'atatya Putin singa amala emyaka egyo nga musibe, abamuwakanya bajja kuggwaamu amaanyi. Ekisinga obukulu, okulonda okugenda okuba mu Russia mu March wa 2024, waakuyimbulwa nga kwakaggwa, ekitegeeza nti Putin aba wa kuyita ku kaweweevu ng'enjogera bw'eri.
Omulamuzi yasoose n'awummu-zaamu ku musango okumala essaawa bbiri nga Navalny agamba nti teyeewulira bulungi olw'okuyisibwa obubi mu kkomera gye yagenda nga ng'obutwa tebunnamuggweramu ddala.