TOP
  • Home
  • News
  • Kkooti egobye ogw'okubba obululu mu Buwekula South

Kkooti egobye ogw'okubba obululu mu Buwekula South

Added 4th February 2021

William Ndooli Museveni ( wakati) ng’ali ne balooya be Nsamba (ku ddyo) ne Kamusiime.

William Ndooli Museveni ( wakati) ng’ali ne balooya be Nsamba (ku ddyo) ne Kamusiime.

Kkooti e Mubende egobye omusango ogwaloopebwa Fred Mwesigye eyali akwatidde ekibiina kya NRM bendera ku kifo ky'omubaka wa Buwekula South nga yeemulugunya ku mivuyo egyetobeka mu kolonda okwawangulwa Williams Ndooli Museveni.

Omulamuzi John Francis Kaggwa ye yagobye omusango Mwesigye mw'abadde yeemulugunyiza ng'okulonda n'okubala obululu bwe kwalimu emivuyo egyamulemesa okuwangula.

Egimu ku mivuyo gye yawawaabira Ndooli Museveni kwaliko okulemesa abalonzi be 1,081 okulonda, okutiisatiisa b'agenti be kyokka era mu kulonda, obululu bwe bungi bwayonoonebwa ne butabalibwa mu bugenderevu.

                     Fred Mwesigye

Balooya ba Ndooli okwabadde Abasi Nsamba Matovu, Esther Bahundani ne Bright Kamusiime baategeezezza Omulamuzi nti ennaku omusango kwe gwawawaabirwa zaayitako okusinziira ku nnaku ennya eziweebwa mu Ssemateeka n'amateeka agafuga palamenti nti omuntu yenna abeera n'okwemulugunya ng'okulonda kuwedde alina kukukola mu nnaku nnya Mwesigye ky'atakola.

Baasabye Omulamuzi okugoberawo omusango guleme kuwulirwa kubanga gwabadde guwozebwa mu bukyamu.

Baasabye kkooti era ebayambeko okusomesa Mwesigye okumanya obululu obukkirizibwa n'obwo obutakkirizibwa mu kubala obululu.

Mwesigye yasabiddwa okuleeta obujulizi obulimu eggumba ky'ataakoze bwatyo Omulamuzi omusango n'agugoba.

Omulamuzi Kaggwa yagambye nti kkooti yabadde etudde mu bukyamu okusinziira ku Ssemateeka ng'ate na buli nsonga eyabadde mu ffayiro teyabaddeko bujulizi bumala kulaga buvuyo bwetobeka mu kulonda n'okubala obululu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abaserikale nga bawaayo ebyambalo.

Aba SPC bawaddeyo ebyambalo...

ABASIRIKALE 200  abaateekebwawo okuyambako mu biseera by'okulonda bazizzaayo ebyambalo bya poliisi abamu  nga...

Aba NUP nga bawaga e Kamwokya.

Aba NUP si bamativu ku miso...

ABAKULEMBEZE b'ekibiina kya National Unity Platform (NUP) bavuddeyo ku misolo emipya egiteekebwateekebwa gavumenti...

Zaake ng'ayogera e Kamwokya.

Omubaka Francis Zaake awera

Omubaka Francis Zaake akiikirira munisipaali y'e Mityana era nga ye mukulembeze w'abavubuka mu NUP, alojjedde Bannakibiina...

Kayongo ng'annyonnyola.

Nkyali mukulembeze w'akatal...

Abadde ssentebe w'akatale ka St.Balikuddembe, Godfrey Kayongo ategeezeza nti akyali mukulembeze w'abasuubuzi b'ekibiina...

Abakugu nga balaga ekyuma ekifuyiira n'okutta obuwuka bwa Covid 19.

Bakoze ekyuma ekifuyiira n'...

Abakugu mu bya tekinologiya okuva mu ggwanga lya Romania nga bali wamu n'ab'ekitongole kya Good Care baliko ekyuma...