TOP
  • Home
  • News
  • Omusango gwa Bobi,Lwaki Museveni ayagala gugobwe

Omusango gwa Bobi,Lwaki Museveni ayagala gugobwe

Added 8th February 2021

Bannamateeka ba Museveni, Usaama Sebuufu (ku kkono), Esau Isingoma ne Isaac Kafeero. Wakati ye Harriet Ssali omuwandiisi wa kkooti.

Bannamateeka ba Museveni, Usaama Sebuufu (ku kkono), Esau Isingoma ne Isaac Kafeero. Wakati ye Harriet Ssali omuwandiisi wa kkooti.

MU bujulizi obupya Kyagulanyi bw'atutte mu kkooti mu musango gw'akalulu, ayagala ebyamukolebwako abaserikale mu kiseera kya kampeyini, bivunaanibwe ne ku Pulezidenti Museveni ng'omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko.

Mu bujulizi buno, bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) bagamba nti okutulugunyizibwa kwonna omuntu waabwe kwe yayisibwamu abaserikale mu kiseera kya kampeyini byasimbukiranga ddala wa muduumizi w'amagye ow'oku ntikko era nga ye Pulezidenti Museveni.

Baawadde ekyokulabirako mu November 2020, Museveni lwe yacoomera aba poliisi olw'okuleka Kyagulanyi okukuba enkungaana ennene era ekyaddako be baserikale
okutabuka ne batulugunya nnyo Kyagulanyi n'abawagizi be era oluvannyuma ne bamukwatira e Luuka nga November 18, 2020.

Mu bujulizi buno era baagala n'ebiwandiiko bya Pulezidenti Museveni ebyobuyigirize bitunulwemu nga bagamba nti etteeka liragira obuyigirize obw'essalira obwa S.6 ku buli ayagala ekifo ky'Obwapulezidenti.

Nkunnyingi Muwada omu ku bannamateeka abali mu musango guno yagambye nti tebakakasa nti, Museveni alina ebiwandiiko by'obuyigirize ebyogerwako kubanga kaweefube yenna gwe bazze bakola okufuna empapula z'obuyigirize bwa Museveni okuva mu kakiiko k'ebyokulonda abadde alemesebwa.

Bannamateeka Anthony Wameri, Geofrey Turyamusima ne Muwada Nkunnyingi ku Lwomukaaga baatutte okusaba kuno mu kkooti ku lwa Kyagulanyi nga mu butongole bagisaba okwongera okukyusa mu mpaaba y'omusango n'okwongerayo obujulizi obulala..

Ensonga 26 ze baasooka okuwa kkooti nga kwe basinziira okugisaba okusazaamu okulondebwa kwa Museveni era nga baagala kwongerako.

Muwada yategeezezza Bukedde nti effujjo lyakolebwa ku Kyagulanyi n'abawagizi be ate nga likolebwa abaserikale abalina omuduumizi ow'oku ntikko (Museveni) ate nga naye y'omu ku baali bavuganya ku kifo kye kimu lyalaga nti akalulu tekaategekebwa mu mateeka era nga kigwanidde kasazibwemu wategekebwewo okulonda okupya okugoberera amateeka.

Bannamateeka Ba Kyagualnyi Nga Batuuka, Ku Ddyo Ye Wameli,abade Nasser Mudiobole N'omubaka Paul Mwiru.

Bannamateeka baagasseeko nti mu kifo ky'okuwa Kyagulanyi obukuumi ate baaweerezanga baserikale bamutulugunya.

Museveni ng'omuduumizi w'amagye ow'oku ntikko nti ye yalina okuwa Kyagulanyi ne
banne obukuumi wabula ate yasindika baserikale abaamutulugunya n'okutuusa ebisago ku baali banoonyeza Kyagulanyi akalulu.

Wameri yagambye bataddemu okusaba kuno kubanga tebaafuna budde bumala kwogeraganya ne Kyagulanyi ku by'omusango guno kubanga enfunda ze baagendangayo okumusisinkana ng'akalulu kaakalangirirwa, baaziyizibwanga abaserikale abaali bataayizza amaka ga Kyagulanyi e Magere mu Kyaddondo East nga tebabaganya kumutuukako.

Obudde nti baatandise okubufuna nga kkooti emaze kuwa kiragiro ekigoba abaserikale ku maka ga Kyagulanyi era kwe kutandika okwogera naye ku by'omusango guno.

Abamu Ku Bannamateeka Ba Museveni.

ABALAMUZI BATUULA KU LWAKUBIRI
Omuwandiisi wa kkooti Harriet Nalukwago Ssali yalagidde aba Kyagulanyi okugenda mu kkooti ku Lwokubiri, abalamuzi lwe bagenda okusalawo ku ky'okukkiriza ennongoosereza mu mpaaba n'obujulizi obupya.

Kkooti y'emu ensukkulumu egenda okutuulako abalamuzi 9 yawadde Olwokuna lwa wiiki eno okusisinkanirako bannamateeka b'enjuyi zonna okukkaanya ku ntambula y'omusango bw'enaabeera n'ensonga ze bagenda okwesigamako mu kuguwulira n'okugusala.

Mu musango guno No. 1 ogwa 2021, Kyagulanyi yawawaabidde Museveni, Akakiiko k'ebyokulonda ne Ssaabawolereza wa gavumenti n'awa ensonga 26 kw'ayagala kkooti esinziire esazeemu obuwanguzi bwa Museveni mu kalulu akaakubiddwa January 14, 2021.

Ssentebe wakakiiko k'ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangirira Museveni owa NRM nga January 16, 2021 ku buwanguzi n'obululu 5,851, 037
olwo n'addirirwa Kyagulanyi owa NUP eyafuna obululu 3,475,298 kyokka Robert Kyagulanyi Ssentamu n'abiwakanya.

Munnamateeka wa NRM Oscar Kihika eggulo yategeezezza bannamawulire nti baabadde tebannaba kutegeezebwa mu butongole nti Kyagulanyi ayagala kukola nnongoosereza mu mpaaba y'omusango gwe, kyokka n'agamba nti beetegese okukiwakanya mu kkooti.

Kihika yagambye nti omusango baagala gusigale nga gutambulira ku mpaaba eyasooka kubanga obudde etteeka bwe liwa kkooti okuwulira omusango gw'eby'okulonda n'okuwa ensala butono.

Oscar Kihiika

Obujulizi n'ennongoosereza mu mpaaba ttiimu ya balooya ba Kyagulanyi bye baawaddeyo, bya kulowoozebwako singa kkooti enaabeera ekkirizza okusaba kwabwe.

Munnamateeka wa NRM omulala Enock Barata yagambye nti tebayinza kunyooma
musango gwa Kyagulanyi kubanga omuntu w'asalirawo okutwala omusango ogw'ekika kino mu kkooti abeera alina bye yeesigamyeko era y'ensonga lwaki bbo ng'aba NRM
bayungudde ttiimu za bannamateeka okwanganga aba Kyagulanyi; n'akkaatiriza nti balina essuubi okuwangula omusango.

Kyokka yakkaatirizza nti bagenda kusooka kusimbira kkuuli okusaba kw'okukyusa mu mpaaba n'okwongerayo obujulizi.

       Pulezidenti Museveni

OKWANUKULA KWA MUSEVENI 

Museveni mu kwewozaako kwe yawaddeyo ku Lwomukaaga, ayagala kkooti egobe omusango gwa Kyagulanyi.

Yayise mu Bannamateeka ba K&K Advocates ne Byenkya, Kihika & Co. Advocates n'ategeeza kkooti nti yalondebwa mu butuufu, talina tteeka lye yamenya era yagoberera bulungi amateeka n'ebiragiro ebyamuweebwa akakiiko k'ebyokulonda wamu n'okugoberera Ssemateeka wa Uganda.

Ku kya Kyagulanyi okutulugunyizibwa abaserikale, Museveni agamba nti tabimanyiiko kyokka yawulirako nti emirundi mingi Kyagulanyi yeeyisa mu ngeri etyoboola amateeka agaateekebwawo okutangira okusaasaanya corona, amateeka g'ebyokulonda wamu n'ebitongole by'okwerinda.

Bye bamulumiriza mu musango nti yasisinkana akakiiko k'ebyokulonda n'akawa ebiragiro yategeezezza kkooti nti kino yakikola nga Pulezidenti kubanga baali bamutegeezezza ssente ze baateeka mu mbalirira zaali tezimala kale nga waliwo by'alina okutereeza nga Pulezidenti w'eggwnga.

Okutulugunya n'okutta abantu nga Kyagulanyi bw'agamba, Museveni yategeezezza kkooti nti nga November 18, 2020 waaliwo okwekalakaasa mu ggwanga olwo abeebyokwerinda ne bajja okukkakkanya embeera era abantu mu kugezaako okulwanyisa abeebyokwerinda akanyoolagano ne kafiiramu abantu 54.

Okugamba nti mu kifo we baagattira obululu e Kyambogo tebaagoberera mateeka yategeezezza kkooti nti yasindikayo Ssaabawandiisi w'ekibiina kya NRM Justine Kasule Lumumba era bwe yavaayo yamutegeeza nti buli kimu kyatambula bulungi.

Museveni agamba nti bwe yali anoonya akalulu yagoberera amateeka agabaweebwa akakiiko k'ebyokulonda era ng'abantu batuulanga mu weema nga beewadde amabanga era talina nkungaana ze yakuba wamu n'okuyisa ebivvulu era baagobereranga ebiragiro byokwewala Corona.

Museveni yeeganyi eby'akakiiko k'ebyokulonda okumuyisa mu ngeri ey'enjawulo ku balala be yali avuganya nabo kuba tewali kyali kyetaagisa kumuteekako maanyi ag'enjawulo kubanga yali agoberera amateeka n'ebiragiro byonna.

Ku ky'okuggyako yintaneeti, Museveni yayanukudde nti akimanyi yintaneeti yaggyibwako nga January 13, 2021 ng'okunoonya akalulu kukomekkerezeddwa wabula n'agamba nti kyali kisaanira okwewala okusaasaanya amawulire amakyamu n'okukuma omuliro mu bantu kiyambeko okubeerawo emirembe ku lunaku lw'okulonda.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...