TOP
  • Home
  • News
  • Abawagizi ba NRM be baayonoonera ebintu bafunye essuubi

Abawagizi ba NRM be baayonoonera ebintu bafunye essuubi

Added 15th February 2021

Kaaluuma ng’alaga emmwaanyi ze ze baasaawa e Jjalamba.

Kaaluuma ng’alaga emmwaanyi ze ze baasaawa e Jjalamba.

PULEZIDENTI Museveni mu kwogera kwe yanokoddeyo abawagizi ba NRM be baakolako effujjo okuli Jimmy Kaaluuma ow'e Jjalamba mu Mpigi gwe baasaayira olusuku n'okwonoona vanilla n'olusuku lwa yiika ssatu.

Bukedde yatuukiridde Kaaluuma eggulo e Jjalamba mu ggombolola y'e Buwama mu Mpigi n'alaga essanyu ku byayogeddwa Pulezidenti n'agamba nti bibagumizza nnyo.

Kaaluuma yagambye nti obuzibu bwatandika ku lunaku lwe yeenyigira mu kukuuma akalulu ka Pulezidenti nga January 14, 2021 era mu kukabala ne bamutabukira nnyo era poliisi n'amagye ne bamutaasa wabula nti abawagizi ba NUP ne bamwewerera olw'okuwagira NRM ne balaalika okumukolako ekiro. Mu kiro ekyo baalumba ennimiro ye eya vanilla ne bagisaawa.

Enkeera yagenda ku poliisi e Jjalamba n'aloopa omusango gw'okumwonoonera ebintu wabula ate enkeera nga January 16 ne balumba ennimiro eyookubiri omwali ebitooke n'emmwaanyi ne babisaawa era awo kwe kuddamu ne yeekubira enduulu ne basindikayo amagye okumuwa obukuumi.

                               Ssebwato Ne Ssali

John Bosco Ssebwato ow'e Jjalamba naye agamba nti omusiri gwe ogw'ennyaanya baagufuuyira eddagala era zonna ne zikala era agamba nti baakimukola lwa kuwagira NRM. Ssebwato yagambye nti kati bagumu kubanga ensonga z'ebyokwerinda Pulezidenti azikwasizza maanyi.

Kyokka Henry Ssali ow'e Kanoni mu Gomba ng'ono naye Pulezidenti amwogeddeko nti baamwokera emmotoka olw'okuwagira NRM, yayogedde ne Bukedde eggulo n'ategeeza nti akyali mu kutya kubanga abamu ku bantu abaali bakwatiddwa baayimbulwa era yasabye Pulezidenti okubongera obukuumi.

Leediyo Gomba ng'eno Ssali gy'alumiriza nti yali ekuma omuliro mu bantu yaggalwa ate ne maneja waayo n'akwatibwa wabula oluvannyuma yayimbulwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ku kkono Sophie eyeekubye Ttatu mu mugongo nga bw'afaanana ( ku ddyo).

ooo...Kalaso muka ng'erinny...

OMUGOLE wa Kalaso Kokoliroko omupya amutenda ‘obukambwe' obwalema mukyala mukulu, Ruth Musimenta okugumira n'amusibako...

Metropolitan Jonah Lwanga ( ku ddyo) ng’ayanjulira abakkiriza Dikoni Cornelius Gulere.

Mwongere amaanyi mu kulyowa...

SSAABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi, Metropolitan Jonah Lwanga asabye Bakabona okwongera amaanyi mu kulyowa emyoyo...

Migadde eyabbiddwa ng’aliko by’annyonnyola poliisi.

Ababbi banyaze amaduuka e K...

ABANTU abatannategeerekeka balumbye abatuuze b’e Kisozi e Buddo mu Town Council y’e Kyengera ne banyaga bya bukadde....

Abby Walusimbi ng'akwasibwa engule ya Pulezidenti Museveni eggulo.

Museveni bamuwadde engule ...

BANNAMAKOLERO okuva mu mawanga ga Afrika ababeera mu Amerika bawadde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni engule....

Abooluganda n'emikwano nga bali mu lukiiko mu maka g'omugenzi Kasango.

Nnamwandu asinzizza amaanyi...

Ffamire ya Bob Kasango, eyafiiridde mu kkomera e Luzira, baatuuzizza enkiiko eziwerako nga balemeddwa okukkaanya...