TOP
  • Home
  • News
  • Kasooli gwe nnima mmufuula mmere ya nkoko okufuna ekiwera

Kasooli gwe nnima mmufuula mmere ya nkoko okufuna ekiwera

Added 15th February 2021

Obumu  ku bukoko bw’alunda.

Obumu ku bukoko bw’alunda.

ABAVUBUKA omwaka bagutandise na nkuba mpya okutumbula ekisaawe ky'obulimi n'obulunzi e Mukono.

Paul Bijumbuko ow'e Nakisunga mu Kyaggwe Obulimi n'obulunzi abatutte ku ddaala dEdala. Akeera kulima na kulabirira bisolo ate oluvannyuma ne yeesogga ofiisi ye. Alina olusuku, kasooli, alunda enkoko, era azimbye n'ekyuma ekyongera omutindo ku kasooli okukolamu emmere y'ebisolo e Mukono.

ENTANDIKWA
"Nkyalidde ku bitongole ebinoonyereza ku byobulimi n'obulunzi ebiwerako ne nsangayo abakugu mu byobulimi nga bakeera mu nnimiro bwe bamala ne bagenda mu ofiisi. Kino kyansanyusa ne ndowooza nti kisobola okufuula omulimu gw'obulimi ogw'ekitiibwa.
Okulima nakutandika mu buto kuba bazadde bange balimi. Mu 2013 bwe namaliriza S4 nali siraba kye ng'enda kukola. Saalina nsimbi zitandikawo bizinensi ate nga siraba ayinza kuzimpa.
TAATA YAMPA ETTAKA
Nakizuula nti ssinga nnoonyereza ku by'okulima, taata asobola okukkiriza okunnyamba. Namuyitiramu ensonga yange n'agisiima kyokka teyampa nsimbi nkalu.
Yanzikiriza okulimira obutunda ku kibangirizi ky'ekitundu kya yiika ku ttaka lye. Ensigo z'obutunda nze nazeemereza era nafuna busigo bwa butunda bwe bakamuddemu ne nsimba.

Taata yampa emiti gya bwereree okusimba ekidaala obutunda kwe bulandira. Obutunda bwali busukka mu kitundu kya yiika.

NASOOKA KUFUNA OBUKADDE 13
Bwe nakungula nabuggyamu obukadde 13. Okuva olwo sadda mabega era ensimbi zino zannyongera ekinyegenyege okujjumbira omulimu gw'obulimi. Kitange bwe yalaba kino yasanyuka nnyo n'ampa amagezi nsome ebyobulimi nsobole okuba n'obukugu obumala. Ebigezo bya S4 olwakomawo nagenderawo e Bukalasa mu ttendekero ly'obulimi n'obulunzi. Nasaba kusoma satifikeeti mu byobulimi n'obulunzi era ne ngimaliriza oluvannyuma lw'omwaka gumu.

ESSIRA LIRI KU KASOOLI
Mu 2015 nga mmalirizza satifikeeti yange obutunda nasalawo okubuleka essira ndisse ku kulima kasooli naye nga simutunda wabula nga mmuliisa ebisolo. Nnima kasooli n'okulunda enkoko z'ennyama ate gunsobozesezza okutandikawo n'ekyuma ekikuba emmere y'ebisolo mu kibangirizi kya bannamakolero mu kibuga Mukono Awali ne ofiisi yange.

OFIISI YA BIBALO
Nkeera kulima n'okulabirira enkoko zange. Bwe mmaliriza ne nzija mu ofiisi ne mpandiika bye mba nsanze mu nnimiro yange Okugeza; ebirime ebirwadde, birwadde ki, biwona bitya era mbuziyiza ntya?

Mpandiika ne bye mba nsanze ku ddundiro nga amagi ge mba nfunye mu lunaku, obungi bw'emmere enkoko gye ziridde, amazzi ge zinywedde, eddagala lye zeetaaga n'ebirala. Mu ofiisi era mbalirira kasooli gwe tuguze n'aleetebwa ku kyuma n'emmere y'ebisolo gye tuba tukubye n'okutunda. Buli sizoni nnima yiika za kasooli bbiri. Kasooli gwe nfunamu ammala okulunda enkoko 1,000 ez'ennyama n'enzifunamu kinene nnyo okukira abatunda kasooli omukalu. Oyinza okwebuuza nti kino nkikola ntya?




ABAKOZI
Nnina abakozi basatu abankwatizaako kyokka waliwo emirimu lwe gibeera emingi ne nfunayo abalala ab'ekiseera. Obukuta bwe nzigya mu nkoko bwe nkozesa nga ebigimusa kuba tebwonoona ttaka.

EKIBALO
Buli yiika ntera okukungulamu ensawo wakati wa 22-25 buli sizoni. Zino ziba ttani bbiri n'ekitundu oba kilo 2,200 - 2,500. Nnunda enkoko 1,000. Mu Ssande ttaano zokka enkoko ziba zikuze nga zizitowa kkiro emu n'omusobyo era buli nkoko ngitunda Sh 10,000 mu kiseera ekyo. Kino kitegeeza nti mu myezi ebiri kasooli abalirirwamu Sh 2,200,000 mba mmufunamu obukadde 10.

ENSAASAANYA
Okulimisa yiika ya kasooli nsaasaanya 800,000/-. Yiika bbiri ze 1,600,000/- Bw'ogattako ne 2,500,000/- ezigula obukoko, eddagala n'abakozi, nsobola okusaasaanya Sh 5,000,000 naye ne nkola amagoba.

EBISEERA BY'OMU MAASO
Nafuna we nnimira gye mpangisa. Njagala okulaba nga nteekawo kkampuni ey'amaanyi eyaluza enkoko enzungu nga tetwetaaga kulagiriza ziva South Africa kuba kitutwalako ssente mpitirivu ze twandikozeemu ebirala.

Okuyamba abantu. Abantu abaagala okuyiga okukola amagoba mu mulimu gw'obulimi n'obulunzi mbasomeseza bwereere. Ekyuma kya kasooli kye nagula kyatondawo emirimu n'okuyamba abantu okweggya mu bwavu.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...