TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Paapa awadde Bannayuganda 8 ebitiibwa

▶️ Paapa awadde Bannayuganda 8 ebitiibwa

Added 16th February 2021

Abamu ku beetabye ku mukolo.Ku kkono ye Regina Yiga.

Abamu ku beetabye ku mukolo.Ku kkono ye Regina Yiga.

Paapa Francis awadde Bannayuganda munaana ebitiibwa by'abaserikale ba Paapa okubasiima olw'emirimu emirungi gye bakolera Eklezia.

Mu baaweereddwa kuliko; Tereza Mbire okuva mu kigo ky'e Kansanga ono ye nnyina wa Charles Mbire owa MTN, Regina Yiga okuva mu kigo ky'e Munyonyo, mukyala wa nnannyini Steel and Tube ne Mary Nansubuga ng'aweereza mu ofiisi z'essaza lya Kampala.

Mbire, Kasozi, Kaseenene.

Abalala ye Joseph Yiga, nnannyini Steel and Tube, okuva mu kigo ky'e Munyonyo, Dr. Saturninus Kasozi Mulindwa ono ye ssentebe wa Lubaga Foundation, Kiwamirembe Shrine, Anthony Nakalya Mateega eyali Ssaabakristu wa Kampala, ng'ava mu kigo ky'e Bunnamwaya nga kati y'amyuka Ssaabakristu wa Uganda, Polof. Peter Kasenene eyaliko Ssaabakristu wa Uganda ate ne Ssaabakristu wa Mbarara Archdiocese ng'ava mu kigo kya Mbuya ne Emmanuel Katongole cansala wa Nkumba University omuggya era ssentebe wa kkampuni ekola eddagala eya CIPLA e Luzira.



Bino byalangiriddwa Cansala wa Kampala, Fr. Dr. Pius Male, mu Mmisa eyakulembeddwa Ssaabasumba, Dr. Cyprian Kizito Lwanga ku Pope Paul VI Memorial Hotel mu Ndeeba ku Ssande ku mukolo nga bannaddiini (Abasisita ne Babbulaaza n'abasaseredooti abali wansi w'ebibiina eby'enjawulo) mu ssaza
lya Kampala bakuza olunaku lwabwe.

Ng'ayigiriza, Ssaabasumba yennyamidde olw'embeera embi ey'ebyokwerinda eri mu ggwanga n'asaba wabeerewo okusonyiwagana era n'asiima Pulezidenti Museveni okuvaayo n'agumya eggwanga ku mbeera eno.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengoozi ng'alaga tayiro z'akola.

Okukola tayiro okuva mu bis...

“ Nze nabonaabona n'okunoonya emirimu nga n'akamala yunivasitte, kyokka olw’okuba nali nfunye obukugu mu kukola...

Christopher Kasozi ng'awa ebyennyanja emmere.

Abalunzi b'eby'ennyanja bal...

ABALUNZI b’ebyennyanja ku mwalo gw’e Masese e Jinja abeegattira mu kibiina kya ‘’Masese Cage Fish Farmers Co-operative...

Looya wa Ssempala yeekandaz...

LOOYA wa Isaac Ssempala, bba w’omubaka Naggayi Ssempala yeekandazze n’abooluganda ne bava mu kkooti looya bw’alemereddwa...

KCCA ekutte abatundira ku n...

ABASERIKALE ba KCCA bakoze ekikwekweto  mwe bakwatidde abatembeeyi n’abatundira ebintu ku nguudo n’okubowa emu...

Omulangira Ssimbwa

Enfa y'Omulangira Ssimbwa e...

OKUFA kw’Omulangira Arnold Ssimbwa Ssekamanya kuleesewo ebibuuzo nkumu ebirese nga biyuzizzayuzizza mu Balangira...