
Abaatikkiddwa nga baweebwa ebintu eby’okukozesa.
ABAVUBUKA 42 baatikkiddwa ne bakwasibwa ebbaluwa oluvannyuma lw'okukuguka mu masomo g'ebyemikono ag'enjawulo okuli okubajja, okukanika, okuzimba, okutunga engoye n'ebya saluuni.
Ebibiina ebibayambako mu byobulamu n'okukulaakulana byabakwasizza ebikozesebwa mu masomo ge baakuguseemu ne babibagattirako ng'entandikwa y'okutandirako okukola.
Kuno baabagattiddeko ne ssente ez'okubapangisiriza emizigo mwe banaakolera nga za myezi esatu egisooka baleme okukaluubirirwa nga tebannafuna ssente za kupangisa.
Bayambiddwaako ebibiina by'obwannakyewa ebibudaabuda abaana abalina akawuka ka siriimu n'abatalina mwasirizi okuli ekya Uganda Ey'enkya ekikulirwa Henry Paulo Muyingo n'ekya Rakai Health Science Programme.
Olw'ekirwadde kya corona, emikolo gy'okubatikkira gyayawuddwaamu ng'ogumu gwabadde mu Kalungu Town Council ne ku wofiisi za Uganda Eyenkya mu kabuga k'e Kyamuliibwa.
Muyingo yategeezezza nti mu myaka ekkumi gye bamaze, bayambye abavubuka bangi abali mu bwetaavu.
Yagasseeko nti baakwatagana n'ebitongole ebirala okuli ne Rakai Health Science Program okuwa abaatendekeddwa ebyalaani, ebizimba n'okubajja, okukanika n'ebya saluuni ku bwereere.
Akulira ebyenjigiriza David Bbaale Mukasa yabalabudde obutasaagira mu nsonga za corona. Amyuka RDC Abel Bakunda n'amyuka ssentebe wa disitulikiti Hajj Yusufu Sowed Mayanja baabasibiridde entanda y'okukola ennyo.