TOP
  • Home
  • News
  • Namwama avumiridde eky'okwabizaawo ennyimbe

Namwama avumiridde eky'okwabizaawo ennyimbe

Added 17th February 2021

Namwama (wakati) n’abamu ku beetabye ku mukolo. Ku kkono ye Ssaabalangira Musanje Ngobe n'Omutaka Kyana Magala Muteeweta.

Namwama (wakati) n’abamu ku beetabye ku mukolo. Ku kkono ye Ssaabalangira Musanje Ngobe n'Omutaka Kyana Magala Muteeweta.

OMUKUBIRIZA w'olukiiko lw'Abataka abakulu b'ebika mu Buganda, Namwama Augustine Mutumba avumiridde ekikolwa ky'okwabizaawo ennyimbe ng'omuntu yaakafa n'abo abeekweka mu ddiini nti tebaabya nnyimbe n'agamba nti bino bifeebyaBuganda.

Bino yabyogeredde ku kyalo Kyewanise mu muluka gwe Kitale mu ggombolola y'e Kasawo e Mukono- Kyaggwe ku Lwomukaaga mu kwabya olumbe lwa John Ssekamatte Kirigwajjo.
"Ebirungi nfofoolo ebiri mu nnono z'okwabya ennyimbe okuli okwongera okuyigirizibwa ebikwata ku bika byaffe. Bw'ogenda e Buyudaya, Buwalabu, mu Bachina n'abalala beeyagalira mu buwangwa bwabwe naye ffe tulyeyagalira
ddi mu buwangwa bwaffe? Noolwekyo emikolo gino gisaana okukuuma," Namwama bwe yagambye.

Omwami atwala essaza ly'e Kyaggwe, Ssekiboobo Elijah Boogere yasabye abantu okumanyanga ennyambala entuufu egenda ku mukolo egy'enjawulo. John Ssekamatte ye yasikidde jjajjaawe John Ssekamatte Kirigwajjo nga Lubuga we ye Eron Nantumbwe.

Enock Ssevume yasikidde Samuel Male nga Lubuga we ye Angel Nakamatte. Ate Lawrence Busulwa yasikidde Jjajjawe Cosma Ssemunga ng'ono yazaala John Ssekamatte Kirigwajjo.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheikh Mulindwa ng'asaaza Idd e Luweero.

'Gavumenti eyalayidde erwan...

Sheikh Mulindwa ku muzigiti gw'e Kasana Luweero. Ba Samuel Kanyike           DISITULIKITI Khadi wa Luweero,...

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...