TOP
  • Home
  • News
  • Obulwadde bw'omwana bwannemesa eddya

Obulwadde bw'omwana bwannemesa eddya

Added 18th February 2021

Bukirwa n’omwana we.

Bukirwa n’omwana we.

NZE Teddy Bukirwa 26, mbeera Kiteezi Kabaga, ennaku gye ndabidde mu bufumbo eyoza lumonde.

Mu mwaka 2015 nali nkyakolera ku luguudo lwa Nasser mu Kampala, gye nasisinkanira ne munnange eyangamba ebigambo ebyantengula omutima.

Twamala ebbanga ddene nga buli omu yeetegereza munne era oluvannyuma ne tukkiriziganya okubeera ffembi.

Twayagalana ebitagambika era wano we nafunira olubuto lw'omwana waffe asooka. Naye nga wayise ebbanga, omusajja ssente zaamukeendeerako ekyatuwaliriza okuva ku luguudo lw'e Salaama ne tudda e Kiteezi era gye tubeera n'okutuusa kati.

Omwana eyasooka namuzaalira Komamboga era aba awezezza emyaka ena, nafuna olubuto olulala era mu kuzaala omwana yali munene ddala ng'aweza kkiro 3.1. Kyokka nga mmaze okumuzaala, waayitawo wiiki bbiri n'atandika okukogga.

Omwana yalwala kyokka tetwasooka kumanya kyali kimuluma kubanga bwe yakogga n'embeera ze ne zitandika okukyuka. Bwe twamutwala mu ddwaaliro erimu, baatutegeeza nti yayitamu empewo era ne bamujjanjaba. Wadde baamuwa eddagala, naye teyakyukako.

Omusajja ebiseera ebyo awaka yabeerangawo nga ne ssente ayiiya n'azituwa ez'obujjanjabi.

Nga wayise ebbanga ng'omwana akyatubonyaabonya,  nasalawo okugendako e Masaka gye banzaala okubalabako wabula embeera y'omwana ne yeeyongera okutabuka, maama kwe kumwetwalira mu ddwaaliro gya bantegeereza ng'omwana bwe yalina ekituli ku mutima.

Mu kyalo saalwayo ne nkomawo eka ne ntegeeza baze nga njagala tusalire wamu amagezi. Omwami wange olwamanya nti obulwadde bw'omwana bwetaaga ssente nnyingi, yakwatamu obubwe n'agenda era n'okutuusa kati siddangamu kumulaba.

Ekinnuma nti omwana yeetaaga ssente nnyingi, ze sirina ate bw'ova kw'ekyo sirina we nsula nga n'ekyokulya abantu be bannyamba .

Nsaba abazirakisa okunnyamba okumpa ku buyambi oba emirimu nsobole okutaasa obulamu bw'omwana wange. Ndi ku ssimu, 0757272405.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...

Baddereeva ba bbaasi zino baakawatiddwa, zino nga ziri ku poliisi e Lugazi.

Baddereeva ba bbaasi bali ...

POLIISI y'e Lugazi ekoze ekikwekweeto ku bavuzi ba mmotoka beesanze bazivuga okusukka ssaawa za kafiyu.. Ku...

Ku kkono Sophie eyeekubye Ttatu mu mugongo nga bw'afaanana ( ku ddyo).

ooo...Kalaso muka ng'erinny...

OMUGOLE wa Kalaso Kokoliroko omupya amutenda ‘obukambwe' obwalema mukyala mukulu, Ruth Musimenta okugumira n'amusibako...

Metropolitan Jonah Lwanga ( ku ddyo) ng’ayanjulira abakkiriza Dikoni Cornelius Gulere.

Mwongere amaanyi mu kulyowa...

SSAABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi, Metropolitan Jonah Lwanga asabye Bakabona okwongera amaanyi mu kulyowa emyoyo...