TOP
  • Home
  • News
  • Biden ayongedde okusazaamu Trump bye yalekawo

Biden ayongedde okusazaamu Trump bye yalekawo

By Amerika

Added 21st February 2021

Pulezidenti Biden.

Pulezidenti Biden.

AMERIKA, Lwamukaaga

PULEZIDENTI wa Amerika, Joe Biden ayongedde okusazaamu Trump bye yaleka atadde mu nkola bw'asazeewo baddemu okwogerezeganya ne Iran ku nteekateeka z'okukola nukiriya.

Minisita wa Amerika ow'ensonga z'amawanga amalala, Antony Blinken yalangiridde nga yaakava mu kukiiko ne banne abamawanga ga Bulaaya n'akiggumizza nti Pulezidenti Joe Biden mwetegefu okuzzaawo endagaano Obama gye yali akoze ne Iran mu 2015 mu kaweefube w'okukomya okuweesa ebyokulwanyisa namuzisa.

Amerika yagambye nti nneetegefu okuddamu okuteesa n'amawanga gonna agaali mu nteekateeka eno mu nteekateeka emanyiddwa nga P5+1 nga wano amawanga ataano (5) agatuula ku kakiiko k'ebyokwerinda ak'ekibiina ky'amawanga amagatte okuli:
China, France, Russia, Bungereza ne Amerika okwo n'ogattako Germany gatuule okusalawo ku nsonga ez'enkizo ne gayita eggwanga erikwatibwako nga Iran
ne babeerako bye bakkaanyako.

Wabula enteekateeka eno empya kirabika nga Iran bw'ebeera yakuddamu kuteesa ebeera teyagala kutuula ne Amerika kubanga omwogezi wa minisitule y'ensonga z'ebweru, Saeed Khatibzadeh olwabirabye n'ateeka obubaka ku mukutu gwa twitter nti bwe babeera baakuddamu kuteesa ku luno kibeera Iran, P4+1.

Ekyavaako obuzibu nti byonna bye baali batuuseeko mu 2015, Trump yabisazaamu n'atta n'abamu ku bakungu ba Iran nga Munnamagye Qasem Soleimani gwe batta mu January wa 2020 ne Mohsen Fakhrizadeh gwe batta mu November wa 2020.

Kino kyatabula Iran n'esalawo okwongera amaanyi mu kaweefube w'okuweesa nukiriya era kati okuddamu okuteesa nayo babeera ng'abatandikira ku zzeero.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr.Tamale

Fr. Tamale waakuziikibwa Bu...

Fr.  Joseph Tamale 39 afudde oluvannyuma lw'okutawaanyizibwa ekirwadde kya Puleesa n'ensigo. W'afiiridde, abadde...

Omutaka Gabunga, Mubiru  (wakati) ne Benon  Kibuuka (ku ddyo) ng'abasabira omwoyo gwa Ssaabasumba e Lubaga.

Bannaddiini musse ekitiibwa...

OMUTAKA Gabunga,Mubiru Zziikwa owookubiri, asoomoozezza Bannaddiini ku kussa ekitiibwa mu buwangwa n'Ennono. ...

Betty Maina (ku kkono) , minisita Oryem ne Amelia Kyambadde oluvannyuma lw'okussa omukono ku ndagaano.

Gavt. ya Uganda ne Kenya zi...

GAVUMENTI ya Uganda ne Kenya zitadde omukono ku ndagaano egendereddwaamu okumalawo emiziziko egibaddewo wakati...

Lukyamuzi ne Kasibante.

Lukyamuzi ne Kasibante bavu...

ABALWANIRIZI b'eddembe ly'obuntu bawakanyizza emisolo emipya gavumenti gy'ereeta mu mbalirira y'ebyensimbi ey'omwaka...

Abasiraamu nga basimba ekipande ku poloti eyassibwa ku ttaka ly'Omuzikiti  e Kiyunga mu Mukono era ekifo baakyeddiza.

Abasiraamu beddizza ettaka ...

ABASIRAAMU b'omu disitulikiti y'e Mukono abali wansi wa Mukono Muslim District Council batandise okweddiza ettaka...