
Omusajja nga yeetegereza obuyumba bw’obumyu.
AKATALE k'obumyu n'obulunzi bwabwo okweyongera okusituka, kiwadde omukisa eri abo abamanyi okukola ssente era kati batandise okukola obuyumba bwabwo obw'omulembe.
Enkola n'endabika yaabwo ebusobozesa okussibwa mu bifo ebifunda oba mu luggya kuba buserekebwa ng'ennyumba ez'ebbeeyi.
Adam Wani omu ku bakola obuyumba buno ku 3rd Street mu Industrial Area mu Kampala annyonnyola engeri kino gy'akikolamu:
Nnasookera ku kunoonyereza ku nzimba yaabwo okuva mu bakugu ssaako n'ebitabo
ebirambika ennunda y'obumyu.
Ebyeyambisibwa mu kubukola:
Nneeyambisa bbookisi za mbaawo omujjira ebyamaguzi okuva wabweru w'eggwanga nga ze mpangulula.
Olw'okuba bbookisi zino oluvannyuma lw'okuziggyamu ebyamaguzi ziba tezikyalina
mugaso eri abagagga, tutera kuzifunira ku bwereere oba okuteekayo akasente akatono eri abo abazikung'aanya ssaako n'ezentambula yaazo okuzituusa mu kifo w'enkolera.
Naye munda w'obuyumba nneeyambisa obutimba omuyita omusulo n'obusa bwabwo,
emisumaali egibukomerera, ppata z'oku buggi, ssaako n'eddala eryongera okusiigibwa ku mbaawo olw'obutakosebwa nkuba (Wood preservative) .
Bbeeyi yaabwo esinziira ku bunene wabula nga butandikira ku 500,000/- okudda
waggulu ng'oluvanyuma lw'okusaasanya byonna era nsigala nfissa ekiwera.