TOP
  • Home
  • News
  • Amasomero 10 gagenda kufuna kompyuta 15

Amasomero 10 gagenda kufuna kompyuta 15

Added 21st February 2021

Minisita w'ebyenjigiriza ebyawansi Rosemary Ssenninde ng' akwasa abasomesa kompyuta  ku ssomero lya Kitala secondary e Katabi

Minisita w'ebyenjigiriza ebyawansi Rosemary Ssenninde ng' akwasa abasomesa kompyuta ku ssomero lya Kitala secondary e Katabi

Amasomero 10 gaakufuna kompyuta 15 buli limu okusobola okuyambako okutumbula tekinologiya, enteekakeeka eno ekulembeddwaamu minisita w'ebyenjigiriza ebyawansi Rosemary Ssenninde.

Ono abadde ku mukolo gw'okukwasa abakukira amasomero 10  mu Wakiso kompyuta zino era ng' omukolo gubadde ku ssomero lya Kitala Secondary e Katabi .

Ku mukolo guno Ssenninde yategeezeza nti agenda kusigala ng' akolera abantu  mu Wakiso awatali kubalekerera. 

Akuutidde abasomesa obutabikako kompyuta zino kuzitereka kubanga baziwaddeyo kuyamba abayizi .

Ono agambye nti abayizi balina okuyigirizibwa technologiya kubanga gwe mulembe .

Meeya w'e Katabi, Ronald Kalema ye yasabye Minisita okuyambako essomero lino okuddamu okufuna ettaka lyalyo eriweza yiika 4 nga zino zigenze zibbibwa era nga kati terikyaweza na yiika kwe litudde. Era asabye minisita okussaawo akakiiko okukola okunoonyereza ku nsonga eno egonjoolwe.

Ekitongole kya Senninde Foundation ekya minisita Ssenninde kyakwataganye n'ekibiina ekimanyidwa nga ACT-US COMPUTER PROJECT Uganda okuwaayo kompyuta zino.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...

Baddereeva ba bbaasi zino baakawatiddwa, zino nga ziri ku poliisi e Lugazi.

Baddereeva ba bbaasi bali ...

POLIISI y'e Lugazi ekoze ekikwekweeto ku bavuzi ba mmotoka beesanze bazivuga okusukka ssaawa za kafiyu.. Ku...

Ku kkono Sophie eyeekubye Ttatu mu mugongo nga bw'afaanana ( ku ddyo).

ooo...Kalaso muka ng'erinny...

OMUGOLE wa Kalaso Kokoliroko omupya amutenda ‘obukambwe' obwalema mukyala mukulu, Ruth Musimenta okugumira n'amusibako...

Metropolitan Jonah Lwanga ( ku ddyo) ng’ayanjulira abakkiriza Dikoni Cornelius Gulere.

Mwongere amaanyi mu kulyowa...

SSAABASUMBA w’Eklisia y’Abasodokisi, Metropolitan Jonah Lwanga asabye Bakabona okwongera amaanyi mu kulyowa emyoyo...