TOP
  • Home
  • News
  • ▶️ Supreme Mufti akuutidde abagenda okukola ebigezo

▶️ Supreme Mufti akuutidde abagenda okukola ebigezo

Added 21st February 2021

Minisita Sarah Kanyike (ku kkono), Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa, Hajji Jamil Buwembo omukulu w’essomero ne mutabani we .

Minisita Sarah Kanyike (ku kkono), Supreme Mufti Sheikh Kasule Ndirangwa, Hajji Jamil Buwembo omukulu w’essomero ne mutabani we .

SUPREME Mufti, Sheikh Siliman Kasule Ndirangwa asabidde abayizi abagenda okutuula ebigezo bya S4 ne S6 n'asaba Katonda okubasobozesa okuyita obulungi.

Mufti Ndirangwa yakubirizza abayizi okukozesa obudde obusigaddeyo okusoma ebitabo n'okwegayirira Katonda abakulembere mu bigezo ne mu buli kye bakola.

Yawanjagidde Katonda ataase eggwanga ku kirwadde kya Corona kisobozese abayizi abakyali awaka okudda ku masomero.



Yabadde ku Kakungulu Memorial School e Kibuli ku Lwokuna era omukolo gwe gumu gwetabiddwako minisita avunaanyizibwa ku bakadde n'abaliko obulamu Hajjat
Sarah Kanyike Ssebaggala eyakubirizza abayizi okwekwasa Katonda, okubeera ab'empisa n'okwesonyiwa byonna ebiyinza okubaggya ku mulamwa gw'okusoma.

Mu dduwa yeemu baasabidde n'abamu ku bantu ab'enjawulo abalina kye bakoledde essomero lino okuli abagenzi Sheikh Nuhu Muzaata Batte, Dr. Anasi Ssesimba, Badir Kakungulu, Sheikh Nuhu Mbogo, Sheikh Dr. A. Kalisa.

Akulira essomero, Haji Jamir Buwembo yategeezezza nti bakoze buli kimu ekisoboka okulaba ng'abayizi baabwe bayita bulungi newankubadde nga wabaddewo obuzibu obwamaanyi omuli n'ekirwadde kya Corona.

Abayizi 300 be bagenda okutuula S4 ate 350 batuule S6.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

NEZIKOOKOLIMA

▶️ Abaana abakoze ebibuuzo ...

▶️  NEZIKOOKOLIMA: Abaana abakoze ebibuuzo ebyakamalirizo musigale nga mukyali baana awaka.  

Ssempijja ng'asomesa abalimi.

Okugattika ebirime kye kiku...

MINISITA w'obulimi obulunzi n'obuvubi, Vincent Ssempijja asinzidde mu disitulikiti y'e Bukomansimbi n'ategeeza...

Abakristaayo lwe basabira wabweru ku Ssande.

Obulabirizi bw'e Namirembe ...

OBULABIRIZI bw'e Namirembe buyingidde mu nkaayana z'ettaka ly'ekkanisa e Kyanja n'ebugumya Abakristaayo  okusigala...

Jonathan McKinstry (wakati) ng'abuulirira Khalid Aucho (ku kkono) ne Mike Azira (ku ddyo).

Micheal Azira naye annyuse ...

MICHEAL Azira agucangira mu kiraabu ya New Mexico United yeegasse ku bassita ba Cranes babiri abakannyuka omupiira...

Nyombi ng'alaga olubuto mw'afulumira.

Afulumira mu kapiira alaajanye

OMUVUBUKA ow'emyaka 32 alaajana oluvannyuma ly'okumulongoosa ekyenda n'atawona nga kati yeetaaga obukadde butaano...