TOP
  • Home
  • News
  • Uganda efunye ddiifiri atasaaga

Uganda efunye ddiifiri atasaaga

Added 22nd February 2021

Gassama

Gassama

Mu z'okusunsulamu eza AFCON 2022 (March 24) Uganda - Burkina Faso

EKIBIINA ekiddukanya omupiira mu Africa (CAF), kironze ddiifiri omukambwe Bakary Papa Gassama okulamula omupiira gwa Uganda ng'ekyaza Burkina Faso omwezi ogujja.

Omupiira gwa kuddiringana mu z'okusunsulamu abalizannya AFCON 2022, ez'okubeera e Cameroon, omwaka ohujja. Gwe guddirira ogusembayo, ng'omuwanguzi kyenkana ajja kuba ayiseemu.

Abawagizi ba Algeria baayagalako Gassama akaligibwe nga bamulumiriza okubala ggoolo ya Nigeria eyateebwa omuzannyi akuumye, wabula tekyasoboka.

Baali mu zaakusunsulamu abeetaba mu AFCON 2019, wabula ekyewuunyisa nti omuntu y'omu ye yabali mu mitambo nga Algeria ekuba Nigeria 2-1 ku semi mu
mpaka ezisembyeyo e Misiri, era tewaali kwemulugunya.

Kapiteeni Wa Cranes, Dennis Onyango.

OBUMANYIRIVU
Gassama, enzaalwa y'e Gambia, atwalibwa okuba omu ku baddiifiri abasinga obumamyirivu mu Afrika ng'alamudde mu World Cup ebbiri ezisembyeyo
(2014 ne 2018), ne fayinolo eziwerako mu mpaka z'olukalu lwa Africa ez'enjawulo.

Ye yali mu mitambo gya fayinolo ya AFCON 2015 nga Ivory Coast ekuba Ghana, kw'agatta fayinolo mukaaga mu mpaka za kiraabu empanguzi eza CAF Champions League.

Omupiira guno waakugulamula ne banne okuli Abdul Aziz Bollel Jawo, Sulayiman Sosseh, ne Maudo Jallow nga bonna bava e Gambia.  Kalabaalaba w'omupiira ye Masamba Malunga enzaalwa y'e DR Congo.

Burkina Faso y'ekulembedde ekibinja B n'obubonero 8 n'eddirirwa Uganda (7), Malawi
(4) ne South Sudan (1). Singa Uganda ewangula Burkina Faso, ejja kuweza obubonero 10, yeesogge eza Afrika.

Wabula amaliri oba okukubwa Burkina Faso, kitegeeza nti Uganda erina okuwangula Malawi gy'ekyalira mu gusembayo (March 29), esobole okuzannya mu mpaka zino omulundi ogwokusatuogw'omuddiringanwa.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lubega akulembedde ne Amatos ku kkooti e Makindye.

Abaali bafera paasita basin...

ABASUUBUZI b'omu Kampala basindikiddwa mu kkomera lwa kugezaako kufera Paasita ssente ezikunukkiriza mu buwumbi...

Spice Diana asiibuludde aba...

Bya Mukasa Lawrence  ABAYIMBI okuli Spice Diana ne munne Fik Femaika bavuddeyo ne baduukirira abasiraamu ku...

Abakozi ba Rock bavudde mu ...

Bya Phoebe Nabagereka Abakozi mu kampuni ya Roko e Gerenge mu town council ye Katabi bekalakasiza nga balaga...

FDC evumiridde effujjo erik...

Bya Doreen Namaggala AMYUKA ssabawandiisi w'ekibiina ki FDC, Arnold Kaija asabye bannayuganda okukomya okutiisatiisa...

Abazigu balumbye ekigo ne b...

Abazigu ababadde n'ebijambiya, emitayimbwa saako ennyondo bazinze ekigo kya Kabulamuliro Catholic Parish, ne bamenya...