
Omugenzi Kajoba
POLIISI ekutte n'eggalira maama eyatutte omwana we mu ssabo e Mayuge n'afiirayo oluvannyuma lw'omusamize okumusalaasala ng'amuteekamu eddagala.
Aisha Nampeera ye yatutte bbebbi we Amon Kajoba Jairus ow'emyezi 11 mu ssabo e Mayuge okumujjanjaba kyokka n'afiirayo. Kyazuuliddwa nti omwana abadde n'obulwadde bwa nnalubiri kyokka nga maama we alowooza nti ddogo.
Nampeera bwe yatutte omulambo e Makindye ewa Simon Kajoba kitaawe w'omwana baakebedde omulambo nga guliko emisale era ekyaddiridde kwe kumutwala ku poliisi y'e Katwe ne bamuggalira.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Owoyesigyire yategeezezza nti Nampeera yakkiriza nti yatutte omwana mu ssabo oluvannyuma lw'okugezaako amalwaliro amangi ng'omwana takyuka mu mbeera.
Oluvannyuma lw'abasawo okwekebejja omulambo, bakkirizza abooluganda okuziika.