
Kinene (ku ddyo gwe baakutte.
POLIISI ekutte omumenyi w'amateeka ow'olulango gw'erudde ng'enoonya n'emuggalira kyokka n'ategeeza nti, yalokoka.
Poliisi y'oku Kaleerwe ng'eduumirwa Keneth Muhumuza akulira ebikwekweto, byakoze ekikwekweto ky'okunoonya abamenyi b'amateeka abaludde nga batigomya ebitundu bya Kawempe ebyenjawulo okuli; Mulago, Kyebando, Kaleerwe, Bwaise n'ebirala
Abaakwatiddwa baasobye mu 20 okwabadde ne Hamis Kinene 20, abatuuze gwe baawaddeko obujulizi nga bw'alina ekibinja ekiteega abantu ku nguudo ez'enjawulo okuli; olwa Bombo, Binaisa, Alice Kaggwa n'endala.
Jane Nampijja omu ku batuuze yategeezezza nti, poliisi bw'eyimbula Kinene eba ekoze nsobi kubanga azze akuba abantu n'ekibinja kye ng'ebiseera ebisinga batambulira ku bodaboda n'ebissi. Abamu ku bantu mu kibinja kino battiddwa okuli Ivan Tamale eyaakasembayo okuttibwa e Kawanda.
Kinene yagambye nti avuga bodaboda kyokka talina siteegi abasaabaze alonda balonde ku nguudo ezenjawulo . Yakkirizza nti, kituufu yaliko ow'omutawaana naye kati yabivaamu n'alokoka.
Miriam Atoo akulira bambega ku poliisi y'oku Kaleerwe yategeezezza nti, Kinene aludde ng'anoonyezebwa Flying Squad ku misango egy'enjawulo nga bazze bamuliimisa ne balemererwa okumukwata nga ku luno baabadde baagala kukwata balala ne bamuyooleramu.