TOP
  • Home
  • News
  • Abalozezza ku bukambwe bw'abakwata kafiyu balojja

Abalozezza ku bukambwe bw'abakwata kafiyu balojja

Added 22nd February 2021

Sam Onyapidi

Sam Onyapidi

ABAVUBUKA basatu abatuusibwako ebisago mu budde bwa kafiyu e Kamwokya beekokkodde obukambwe bw'abeebyokwerinda.

Baasangiddwa Kamwokya mu zooni ya Kifumbira n'abalala ku bitanda mu ddwaaliro gye bajjanjabirwa e Mulago ku Lwokutaano, ne beekokkola obukambwe obusukkiridde abaserikale ba poliisi n'abaamagye bwe bakozesa nga bakola ebikwekweto by'ekiro bye bagamba nti, bisusse okutulugunyizaamu abantu.

Sam Onyapidi 31, asula mu Kifumbira yasangiddwa mu ddwaaliro e Mulago n'ategeeza nti, yannyuka ekikeerezi ku mulimu ku ssaawa 4:00 ez'ekiro mu kiro ekyakeesezza ku Ssande n'asanga abaserikale abalawuna mu kitundu kyabwe abaamukubye n'amaliriza ng'atwaliddwa mu ddwaaliro ng'ataawa.

Yategeezezza nti bwe yabasanga yali alowooza nti, singa abalaga ebiwandiko bye, bamuleka kyokka bwe yaggyayo ebimwogerako omuserikale omu n'amufumita ekintu mu kifuba ky'agamba nti, kaali kambe ne bamuddusa e Mulago ng'ali bubi.

                    Ssengooba

Muwonge

Yagasseeko nti omuserikale oyo eyamutuusaako obulabe teyasobola kumumanya kubanga yali mu kikooti ekitaliiko mannya n'akakookolo.

"Nagezzaako okukwata mu kifuba okuziyiza omusaayi okunzigwamu ne nkubira abantu bange essimu ne bajja ne bantwala e Mulago", Onyapidi bwe yategeezezza.
Rose Amusugut ssenga wa Onyapindi yategeezezza nti mutabani we we baamutuusiza mu ddwaaliro e Mulago ng'omukka abakamubake ne bamuteeka ku byuma.

Emma Muwonge naye mutuuze mu Kifumbira abaserikale baamukuba ne bamwasa omutwe yategeezezza nti, abaamukuba yabasanga Kololo ne bamubuuza gy'adda oluvannyuma omu n'amukuba kyokka tebakoma okwo baamutwala ne bamuggalira mu kaduukulu ku kisaawe e Kololo ng'ali bubi.

Yategeezezza nti, omuserikale omukazi eyali akola mu budde obwo ye yamuyamba n'ayita abantu be okumutwala ne bamujjanjaba.

Aloysius Ssengoba eyakubibwa n'afuna ekisago ku liiso agamba nti, abaserikale baamusanze ku Lwokubiri ekiro ng'ava mu lumbe lwa mutuuze munnaabwe e Kamwokya ng'adda wuwe. Yagezezzaako okwennyonnyolako omuserikale omu n'amukuba ekintu ku liiso ne bamuleka mu bulumi.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n'emiriraano Luke Oweyesigyire bano yabawadde amagezi okugenda ku poliisi ya Kira Road babaloope basobole okuyambibwa n'ategeeza nti, okwemulugunya kuno nga poliisi babadde tebannaba kukufuna mu butongole.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...

Abamu ku batuuze abaabadde mu kkooti.

Kkooti etandise okuwulira o...

OMULAMUZI Yasin Nyanzi atandise ku nteekateeka y’okuwulira omusango gw’abatuuze b’e Nakawa abaasengulwa ku luguudo...

Bamasheikh bongedde bwiino ...

BAMASEEKA bongedde okuleeta bwiino akakasa ekiraamo Sheikh Nuhu Muzaata kye yakola ne basomooza abakiwakanya okuleeta...

Mulangira ng’aliko by’annyonnyola abayizi.

'Temusuulirira baliko bulemu'

ABAZADDE abalina abaana abaliko obulemu abagenda okutuula ebibuuzo bya P7, S4 ne S6 basabiddwa obutabasuulirira...