
Kim ne Kanye
BASEREEBU b'omu Amerika abeerinnya ne ssente ezitootoogana ng'obukolwa, mwanamuwala Kim Kardashian owa ffiga eyiisa abasajja endusu nga mwolesi wa misono, ne bba Kanye West ng'ono muyimbi ababadde bamaze emyaka omusanvu mu mukwano ogw'ekimmemmete, batabuse.
Kim 40, ng'amannya ge amajjuvu ye Kimberly Noel Kardashian agenze mu kkooti e Los Angeles mu ssaza ly'e Califonia n'agisaba bagattululwe ne bba Kanye Omari West 43, nga muyimbi era polodusa bwe bamaze mu bufumbo emyaka musanvu mwe bazaalidde abaana bana.
Kardashian eyayatiikirira ennyo olw'ebifaananyi bye ebyafuluma nga yeeyambudde ali bute ne bitambula ensi yonna ku mikutu gya yintaneti ne mu butabo bw'abakulu
n'omukutu gwa ttivvi ogwa E! ne gutuuka okumusaba okumukolamu entambi ku ngeri gye batambuzaamu obulamu ne ffamire ye, yagambye nti, bba Kanye West aliko
akazoole ku mutwe.
Kardashian ng'oggyeeko okwolesa emisono, azannya ne ffirimu era mu mu kiseera kino
y'ali wakati wa ffirimu eraga engeri gy'atambuzaamu obulamu bwe ne ffamire ye buli lunaku nga buli kye bakola kikwatibwa ku kkamera ne kiragibwa ku ttivvi ensi yonna n'ekiraba ng'eyitibwa ‘Keeping Up with the Kardashians'.
Kanye West, yayatiikiriira nnyo mu Amerika n'ensi yonna n'awangula n'engule ezimu ku zisinga amaanyi mu kuyimba.
Y'omu ku bayimbi abaddugavu abayimba nga balya ebigambo kiyite ‘rapping' era y'omu ku basinga ettuttumu mu Amerika.
Mu kalulu k'Obwapulezidenti mu Amerika akaawanguddwa Joe Biden, y'omu ku baavuganyizza era yafunye obululu 66,000 mu masaza 12 agakola Amerika.
KIM NE KANYE LWE BAALI MU UGANDA
Kardashian ne Kanye gwe gumu ku migogo gy'abasereebu abaagalana ababadde basinga okwegombesa abantu, abawagizi baabwe mu Amerika ne mu nsi yonna
olw'engeri gye babadde beeraga amapenzi n'okulumya abateesi abatabaagaliza.
Mu October 2018, Bannayuganda baafuna omukisa okulaba ku baagalana bano bwe baakyalako mu ggwanga mu kaweefube w'okutumbula eby'obulambuzi ne bakyalako ne mu maka g'Obwapulezidenti e Ntebe, ne mu makuumiro g'ebisolo ag'enjawulo.
Minisita w'eby'obulambuzi, Godfrey Kiwanda Ssuubi, yategeeza nti, baali bazze okusobola okusikiriza abawagizi baabwe mu nsi yonna okujja mu Uganda okulambula.
Kardashian yagambye nti, ekyamuleetedde akusaba kkooti ebaawukanye ne bba, bwe bulwadde bwa ‘Bipolar disorder' bba bwe yafuna era yakizudde nga takyasobola kubeera naye.
Kino kika kya bulwadde bwa mutwe obukwata omuntu n'akyusa embeera ze. Olumu abeera munakuwavu ng'omubiri munafu nga ne by'akola tabyeyagaliramu, ate olumu n'aba musanyufu nnyo kyokka ng'ate asobola okuba omusanyufu mu butikitiki n'anyiiga nga bw'aba anyiize asobola okukola ekintu kyonna eky'obulabe.
Baafumbiriganwa mu 2014.