TOP
  • Home
  • News
  • Omutindo gwa ttiimu ento guwa essuubi

Omutindo gwa ttiimu ento guwa essuubi

Added 22nd February 2021

Edward Kalungi

Edward Kalungi

KANTWALE omukisa guno okwebaza Bannayuganda mwenna abaagaliza ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20 (The Hippos), ebirungi.

Ttiimu eno eri mu mpaka za AFCON U20 omulundi ogusookedde ddala. Empaka ziyindira Mauritania, nga zeetabiddwamu amawanga 12, ezinaatuuka ku semi zeesogge World Cup.

Ttiimu yonna eyagala okuva mu kibinja erina okuwangula omupiira ogusooka,
okutangaaza emikisa gy'okusamba oluzannya oluddako.  Hippos yawangula Mozambique 2-0.

Amawanga agasinga okusamba omupiira mu Afrika, geeyambisa empaka nga zino okutunda abasambi baazo ate n'abatendesi bazijjumbira nnyo kubanga mwe basuubira okufuna abasambi abakyali mu myaka emito.

Abamu ku basambi abavudde mu mpaka nga zino kuliko; Kanu, Jay-Jay Okocha, Samuel Eto'o, Benni McCarthy, Celestine Babayaro, John Obi Mikel,
Michael Essien, Didier Drogba n'abalala.

The Hippos okutuuka weeri si mukisa. FUFA etaddemu obudde ne ssente okubategeka,
okuviira ddala mu liigi y'abato (FUFA Junior League).

FUFA ezimbye abazannyi bano okuviira ddala ku myaka 15, era baawangula CECAFA
U15 eyali e Rwanda, CECAFA U17 e Tanzania, ate be bakyampiyoni be CECAFA U20 mu kiseera kino.

Ndowooza kati Bannayuganda batandise okulengera ekirooto kya pulezidenti
wa FUFA, Ying. Moses Magogo, kyeyali ayaayaanira.

Ekirooto kino kyakuzimba omupiira okuva wansi, kubanga bw'otunuulira ttiimu ezo zombi (U17ne 20) eziri mu AFCON, olabira ddala nti waliwo okuzimba omupiira okuva ku musingi.

Baludde nga bali wamu, era FUFA byonna ebibakwatako ebirina. Nsuubira nti mu biseera eby'omu maaso, Uganda ejja kubeera ne ttiimu y'eggwanga ennungi.

edwardkalungi05@gmail.com
0705781090/ 779085702

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...

Maj. Katamba.

Abaazirwanako 200 bagenze S...

EKIBINJA ky’amagye ekisooka e Kakiri kisunsudde abaazi rwanako 200 nga baakutwalibwa e Somalia okwongera okukuuma...