TOP
  • Home
  • News
  • Ttiimu y'eggwanga ezimbibwe okuva wansi

Ttiimu y'eggwanga ezimbibwe okuva wansi

Added 22nd February 2021

Simwogerere 1

Simwogerere 1

UGANDA ekyalemedwa okuzzaawo abazannyi abasamba omupiira ne batutumuka, nga ku mulembe gwaffe.

Kino kyaviiranga ddala mu nteekateeka eyaliwo, ng'omuzannyi bw'ayingira ttiimu z'eggwanga afiibwaako nnyo era nga bakooci bamweyunira ne bamuzimba okutuuka lw'afuuka owoomugaso.

Ku mulembe guno kikyalemye, olw'ensonga nti abasomesa ababaddewo abasinga babadde tebamanyi kye bakola. Uganda yakoma ku bazannyi nga Magid Musisi, Jackson Mayanja, Isa Ssekatawa, George Simwogerere, Denis Obua n'abalala.Weebuze lwaki, ng'ate abantu bagamba nti kaakati omupiira gukuze.

Nzize mbagamba nti omupiira tegukuze, wabula baakyusa emitendera amawanga mwegayita okusamba ez'akamalirizo, ekyatuwa ebbeetu okuyitira mu bitundu mwetubadde tusambira.

Kati kyangu nnyo okuyitamu okusamba World Cup, naye tekitegeeza nti omupiira gweyogeddeko nnyo, nedda.

Kino okirabira ku bazannyi, nga tewali gw'ogamba nti Uganda kwesibidde olukoba. Bazannya ng'abaabulijjo, ky'ova olaba nti ne bwetugenda wabweru w'eggwanga tewali muzannyi gwe beeraliikirira, nga mu biseera biri nga Uganda erina Musisi mu maaso, Mayanja mu makkati, Paul Hasule, Simwogerere ne Semugambi emabega, Vvubya, Obadiah Ssemakula, Simbwa n'abalala. Twagendanga okutuukayo nga ttiimu yatutidde dda.

Tekikyaliwo kuba abazannyi tebakyawangaala ku ttiimu ya ggwanga kuba buli mulundi bayita balala. Omuwagizi wa Uganda tayinza kumanya ttiimu eneeyitibwa, kyokka ng'asobola okulonda ttiimu ya Liverpool.

Abazungu basima omusingi ate ne bagutambulirako, ekitali wano era kijja kututwalira ebbanga okuzzaawo omutindo gwa Cranes abawagizi gye beenyumirizaamu.

N'okwetimba omujoozi gw'omuzannyi tekikyasoboka kubanga tomanyi oba banaamuyita. Ate kitandikira mu ttiimu z'abato, sso nga baandigenze okuyingira ttiimu enkulu nga beemanyi era nga beetegeera bulungi.

georgesimlala@gmail.com
0702129092

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...