TOP
  • Home
  • News
  • Minisita Nakiwala Kiyingi bamuyingizza mu nsonga za Muzaata

Minisita Nakiwala Kiyingi bamuyingizza mu nsonga za Muzaata

Added 22nd February 2021

Kulthum Muzaata

Kulthum Muzaata

NNAMWANDU wa Muzaata, Kulthum Muzaata yeekubidde enduulu ewa minisita w'abavubuka n'abaana, Nakiwala Kiyingi ng'amusaba amuyambe okudda mu maka ga bba e Kawempe asobole okukulizaamu omwana we.

Yasinzidde mu maka ga nnyina omuto, Sauda Nampiima Mukwaya, e Lungujja, mu Munisipaali y'e Lubaga, n'agamba nti yeetaaga okudda mu maka ga bba okukuza mutabani we, Anwar Ssessanga 12.

Nampiima yasabye minisita okukangavvula baganda ba Muzaata olw'engeri gye baatyoboola Kluthum ne batuuka n'okumukasukira ebintu ebweru, n'abalumiriza nti baali baagala na kutuusa bulabe ku muwala we nga ne mu kuziika e Kigogwa tebaamukkiriza kulinnyayo.

Yagambye nti, okuva bba lwe yafa, omwana we yafuuka mmomboze, talina kifo w'ayita waka n'asaba minisita Kiyingi okuyingira mu nsonga zino omwana we afune obwenkanya.

Omwana wa Nabunya, Muzaata yali yamuteeka mu ‘International School' nga buli mwaka basasula obukadde 10, Nabunya yagambye nti, ennyumba y'amaka ayagala ekolebwemu ekintu ekisobola okuvaamu ssente okulabirira omwana we, ssaako bizinensi omugenzi ze yaleka nazo ziveemu ssente ezirabirira omwana.

Yagambye nti, ayise mu kutulugunyizibwa kungi okuva mu ba ffamire ya bba n'agamba nti, kyamuyisizza bubi nnyo okulaba nga muwala we bamukasuka wabwerung'embwa, ate nga ewa Muzaata yafumbirwayo mu mateeka.

Nampiima wakati ng'ayogera yatulise n'akaaba ng'agamba nti, alina ennyiike ku mutima olw'engeri aba ffamire ya Muzaata gye balulunkaniramu emmaali y'omugenzi, n'abawa amagezi beekolerere kubanga omugenzi yaleka abaana.

Nnyina wa Nabunya okuta akaka kiddiridde akola ku nsonga z'abafu okusazaamu ekiragiro kye yali yawa Nabunya ne mutabani we Anwar Ssessanga okudda mu maka e Kawempe.

Sauda Nampiima Mukwaya

Ofi isi ekola ku nsonga z'amaka yasooka kuwa kiragiro Nabunya n'omwana we badde mu maka aba ffamire ne muggya we Madina Bugirita kye baawakanyizza, era Nabunya teyabaddeyo nga basazaamu ekiragiro ku Lwokuna, wabaddeyo muggya we, ne balamu
be.

Nampiima aba ffamire ya Muzaata yagambye nti, ‘babbi' abaatwala ebintu by'omugenzi nga n'edduwa y'ennaku 40 tennalombebwa.

Yagasseeko nti, muwala we ebintu bye eby'omuwendo aba ffamire ya bba baabigabanye ne bamukasukira engoye atambule abaviire.

Nampiima yagambye nti, muwala we yafumbiriganwa ne Muzaata nga mwana muto (yalina emyaka 16) ne bakola endagaano Muzaata okumusomesa okutuusa lw'anaamaliriza okusoma.

Okuva Muzaata lwe yafa nga December 2, 2020, ffamire yatandikirawo okusika omuguwa ne Nabunya nga balumiriza nti, bba yagenda okufa nga yanoba dda, nga ne mu ddwaaliro lya IHK gye yafi ira, abooluganda be baaliyo nga bamujjanjaba.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...