TOP
  • Home
  • News
  • Omuyizi wa S6 awangudde eky'obwakkansala

Omuyizi wa S6 awangudde eky'obwakkansala

Added 23rd February 2021

Nakato

Nakato

Shakirah Nakato Kalumba 19, omuyizi wa St. Lawrence Schools eyava ku ssomero okudda awaka olw'obulwadde bwa Corona yaazzeeyo nga ye kkansala omukyala akiikirira eggombolola y'e Butenga Rural ku lukiiko lwa disitulikiti y'e Bukomansimbi!

Shakirah Kalumba omuyizi wa S.6 , bazadde be ye Ssaalongo William Kalumba ne nnyina Nnaalongo Norah Namuwonge ab'e Butenga mu disitulikitti y'e Bukomansimbi.

Okuyingira ebyobufuzi yali akomyewo wa nnyina ku kyalo Kawoko olw'obulwadde bwa Corona obwaleetera Gavumenti okuggalawo amasomero kyokka eby'okwesimbawo we byatuukira n'asalawo okuvuganya!

Abadde mu nkambi y'omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Bukomansimbi, Veronica Nannyondo. Yatandika okutambula naye ng'omuwandiisi oluvannyuma naye ne yeesimbawo ku kifo kya kkansala wa disitulikiti omukyala akiikirira eggombolola ya Butenga Rural ku disitulikiti ku kaadi ya NUP.

Yavuganya n'abakyala abalala abamusinga obukulu bana. Ku myaka emito gy'alina okwesogga ebyobufuzi, tekyeewuunyisizza nnyo abamu ku bannabukomansimbi.

Ying. Robert Kasekende mu kwogerako ne Bukedde yategeezezza nti kitaawe Ssaalongo
Kalumba naye yali munnabyabufuzi omugundiivu e Bukomansimbi ne Masaka
ng'era yaliko kkansala w'eggombolola y'e Butenga okumala ekiseera nga disitulikiti
y'e Masaka tennasalibwaamu ng'era ebiseera ebyo Vincent Ssempijja ye yali ssentebe
wa disitulikiti y'e Masaka.

Yagambye nti era kitaawe wa Nakato yavuganyaako emirundi egiwera ku bwammeeya
bw'ekibuga Masaka ku kaadi ya NRM era yaliko omuwanika wa NRM owa disitulikiti
y'e Masaka (wadde nga mu kiseera kino NRM yagyabulira dda).

Mu kwogerako ne Bukedde Nakato Kalumba yategeezezza nti mwetegefu okuweereza Bannabutenga abaamulonze ne Bukomansimbi okutwaalira awamu awatali kwawula mu bantu.

Mu kiseera kino Shakira Nakato yaddayo ku ssomero oluvannyuma lwa Gavumenti okukkiriza amasomero okuddamu ku bayizi ab'ebibiina ebyakamalirizo.

Akola masomo okuli Maths, Economics ne Enterprenuership.

  • TAGS:

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aba KCCA nga basiba sseng’enge ku kibangirizi.

KCCA yeddizza ekibangirizi ...

ABAVUBUKA e Kamwokya ababadde bawambye ekibangirizi ky’ettaka lya KCCA basobeddwa bw’ekizinzeeko n’ekikubako olukomera...

Nanyonga (owookubiri ku, kkono) ne Mmeme nga bazannya KCCA.

Meeme ne Nanyonga: Omu yazi...

RUTH Meeme ne Racheal Nanyonga babasi ba mupiira. Bazanyiddeko ku ttiimu y’eggwanga (She Cranes), era bawangudde...

Lagu (ku ddyO), Spice Diana ne Rema Namakula.

Omusawo awabudde ku bagenda...

ABASAWO bawabudde ku baagala okutonera omuyimbi Evelyn Lagu ensigo basooke babakebere. Ku mukolo gw’okwoza emmotoka...

Rev Kisakye

Okusiiba si kwa nnaku 40 zokka

ABAKKIRIZA abeenyigira mu kusiiba okw’ennaku 40 babuuliriddwa okwongera okubeera n’okukkiriza mu Katonda nti yekka...

Fr. Kabanda.

Ekkubo ly'omusaalaba libeer...

NG’OGGYEEKO Olwokutaano Olutukuvu olutambuzibwako ekkubo ly’omusaalaba, mu kisiibo tulagirwa okutambuza ekkubo...